Ekirabo Nga Kya

MIRZA TAHIR AND MUBAILA

LUGANDA

BISMILLAH AR-RAHMAAN AR-RAHIIM

Anti Ahmadiyya movement in Islam

OMUBAHILA NE MIRZA TAHIR

Bya Dr. Syed Rashid Ali

“Abalimba bwe bakolimiragana mu Mubahila n’abantu Ab’amazima; Abantu abo Abalimba bafa nga ab’amazima baky’atemya”

(Bino byali bigambo bya Mirza Ghulam Kadiyani ebyafulumira mu kitabo ky’Aba- kadiyani ekiyitibwa Malfoozaat).

mu mwaka 1988 Mirza Tahir Ahmed kadiyani, nga ono ye yelonda ku bwa Khalifa obwekibiina eky’aba Ahmadiyya yalangirira nga bwatadewo okusoomooza ssemasoomooza mu Mubahila (okukolimilagana) wakatikwe n’Abasiraamu b’omu nsi yonna era ngeno bw’abayita ‘abatakkiriza era abalimba’.

Obupapula obwaliko okusoomooza kuno bwagenda busuulibwa mu mayumba g’Abasiraamu mu bubba, mu kiro, mu kibuga Karachi ekya Pakistan. Abayivu b’Obusiraamu bangi ddala abakkiriza okusomoozebwa kuno, nga mubo mwe mwali Syed Abdul Hafeez Shah, Omutandisi w’ekibiina ekilwanyisa obu Ahmadiyya ekiyitibwa Anti Ahmadiyya Movement in Islam era yalangirira nga bw’asazeewo okugenda mu kibuga London basisinkane maaso ku maaso (nga bweri enjigiriza ya Nnabbi waffe Muhammad (S.A.A.W). Ekyennaku Mirza Tahir, yatya, teyaddayo nakukinyegako n’akamu n’akatono.

Okuva olwo, nange ku lw’ekibiina kino ekiyitibwa Anti Ahmadiyya Movement in Islam, neyongera okugenda mu maaso n’okusoomooza Mirza Tahir yeevemu tukolimiragane. Kino nzize nkikola enfunda eziwerako mu mwaka (1994, 1995, 1997, 1998 ne mu 2000) naye bambi teliyo lunaku nalumu lwe yali yevuddemu n’agogonokayo n’akkiriza okusoomoozebwa kwange. Maulana Manzoor Chinioti agenze mu kibuga London kumpi buli mwaka nga naye asoomooza Mirza Tahir akkirize bakolimiragane bwabeera nga byayimiriddeko byamazima naye nga tevaayo kanyego. Ne muganda waffe mu Busiraamu ayitibwa brother Ahtesham-ul-Haq Abdul Bari naye yasituka n’agenda mu kibuga London ku kitebe ekikulu eky’aba Ahmadiyya mu nsi yonna mu mwezi ogwa September 1996 era n’asaba basisinkane bakolimiragane ne Mirza Tahir mu Mubahila, naye bambi era yeelema era tebaasisinkana.

Naye waliwo olugero oluli mu lulimi olu Urdu olugamba, mu kuluvvunula nti, ‘olaba olumbe lusemberera empisi, olwo luba lusemberedde ekibuga’. Emyaka bwe gigenze giyitawo bukya afuna obwa Khalifa, Mirza Tahir agenze yeyongera okwelagalaga n’okwemanya naye, buli muntu alina ennakuze, era ez’abamu zibeera nnyimpi ate ezabalala zo zibeera mpaavu. Ne wankubadde yali mwegendereza nnyo obuttakkiririza ddala kwetaba mu Mubahila gwonna Mirza Tahir oluvannyuma yakola ensobi nnamuzisa era ssemasobi mu mwaka ogwa 1999. Gwali mwezi gwa June 1999, bweyali omwami Illias Suttar nga akubaganya ebiroowoozo n’omwami Muhammad Usman Omukadiyani ali ku ddaala ly’Omurrabbi mu kibuga Karachi, ekye Ggwanga lya Pakistan, awo mu kwogeraganya kwe baalimu nga enaku z’omwezi 3rd June 1999 omwami Muhammad Usman we yaweera omwami Illias Suttar akatabo akaliko ebigambo ebigamba nti “Challenge of Mubahilla to the Entire Muslim Ummah” ekkivvunulwa nti “Okusoomooza kw’okukolimiragana eri Ummah y’obusiraamu yonna” ekyafuluma nga 10/6/88. Era bw’atyo ne yeewaayo okuyimirira mu bigere bya mukamawe, Mirza Tahir bakolimiragane era nga akola kino okukakasa Amazima n’Obutuufu bwa Mirza Ghulam Ahmad kadiyani. Kino kyayanirizibwa mangu ddala muganda waffe Illias Suttar.

Oluvannyuma nga wayiseewo akaseera eyo mu mwezi ogwa July 1999, bwe yali mu lukuhhaana lwabwe lutabamiruka oluyitibwa Jalsa Salana mu kibuga London, Mirza Tahir yalangirira nga ali mu nkuyanja y’abagoberezibe 18,000 abaali bakuhhanidde mu Izlamubad eky’omu kabuga Surrey mu Bungereza, n’alangirira nti akkiriza basisinkane bakolimiragane. Yatandikirawo okutuuma mwami Illias Suttar buli kika kya linnya elivuma nga gano “Karachi ka Jaahil”, “Lalloo panjoo”, “Airaa Ghairaa Nattoo Khairaa”.

Oluvanyuma lwe nnaku 20 zenyini nga Mirza Tahir amaze okkirizza okwetaba mu Mubahila, ekibonerezo kya Allah ky’amukako bwe yali mu kulambula e Ggwanga lya Norway. Bwe yali ayogera eri olukuhhaana, bagenda okulaba nga taky’asobola kwogera bulungi era mangu nnyo yatekebwa mu nyonyi n’atwalibe mu kibuga London era yamalira ddala weeks eziwera nga tewali amanyi bimukwatako.

Bino byebyaliwo mu kukolimiragana n’ebyo ebyabivaamu nga bwe byatubulirwa muganda waffe Illias Suttar.

Okuvvunula:

Mirza Tahir alangirira omubahila ne Illias Suttar ku T.V. y’Abahmadiyya.

Nga ennaku z’omwezi 30th July 1999 ku mukolo ogwa Jalsa Salana mu kibuga London, mu maaso g’enkuyanja y’Omukadiyani omuyitirivu eyali eyo mu 18,000 eyaseyeguka okuva mu buli kasonda k’ensi yonna.

Omukulembeze w’Abakadiyani Mirza Tahir Ahmad kadiyani yalangirira nga bwakkiriza okwetaba mu Mubahila ne Illias Suttar era nga bakozesa omukutu ogwa T.V y’aba Ahmadiyya byasasanyizibwa ensi yonna. Ebimu ku bigambo ebyayogerwa bye bino wamanga:-

“Mu kaseera kano nga sinnagenda wala, kansooke okubabulira ebikwata ku bungi bwa abantu abazze ku lukuhhaana luno. Idrees Saheb yaakampa kati olukalala lwabwe. Agambye nti abantu olusose basingira ddala wala abo abaali wano ku lunaku olw’asembayo mu lukuhhaana lwaffe olw’asembayo, omwaka oguwedde.

Al Hamudulillah Summa Al-Hamudulillah. Omwaka oguwedde twali abantu 17,500 so ngate olwaleero tuli abantu 18,500….wabula waliwo omu JAAHIL (atamanyi) nga ali mu kibuga Karachi agezaako okukola Omubahila… abayivu muffe basaana bakimanye nti si mulimu gwange okusisinkana buli kinyenyenkule ekinsoomooza okukola Omubahila, okugwetabamu yadde oba nze okusoomooza.

Naye sikimaanyidde ddala lwaki abantu tebategeera. N’olwekyo eriyo ba Murabbi Sahebaan baffe babiri abaagwa mu katego k’abalabe baabwe ne babayita babeeko bye bakubaganyako ebiroowoozo. Yye (Illias Suttar) yajja n’ekigendererwa ekyokuwagikawo Omubahila. Era bwatyo bwe baali mu kukubaganya ebirowoozo n’akikola. Yadde kiri bwe kityo, si kya tteeka gyendi, olw’ensonga nti nze sinnaba ku mudiza kusoomooza okwo. Era sikakibwa kukkiriza kusoomoozebwa okwo. Singa nnakkiriza, nandibadde nteekawo obukwakkulizo nga okwagala okumanya ani ali emabegawe? Ani amuyambako? Ani amukkirizza? Singa anawangulwa, anakkiriza nti Abahmadiyya bawangudde? Naye ebyo byonna nga tubitadde ku bbali ba Murabbias baffe bambi bakkiriza okusoomoozebwa ate ne batakoma awo ne bawayo n’okusoomooza mu linnya lyange. Kati kino kitegeeza ki? Baali tebakkirizibwa kukola kino, naye bambi baali balwanyi ba ggye ly’Abahmadiyya! Bwe batyo bambi ne bakkiriza era NANGE BWENTYO NZIKKIRIZZA. ERA NGA BWE NKIRABA NG’EENDA KUBEERA MU KOLIMIRAGANA OKW’OMUBAHILA.. KINO NKYOGEDDE ERA NKAKASA NTI MU BANGA LYA MWAKA GUMU GWOKKA OMUNTU OYO AN’AKOLA OMUBAHILA NANGE AGENDA KUBEERA NGA AKAKASIDDWA NTI YE MULIMBA”.

Omubahila gukakata oluvanyuma lwenjuyi zoombi okukkirizaganya gugende mu maaso.

Zaali ennaku z’omwezi 3-June-1999. emboozi eyali eyogerwa ku mimwa gy’abantu kwe kwali okuddamu okwaweebwa Illias Suttar, kw’olwo olunaku Mukarram Usman Saheb lwe yawaayo okusoomooza kw’okukolimiragana okwa Mirza Tahir, Imam owokuntikko ow’ekibiina eky’Abahmadiyya eri Mukarram Illias Suttar, era lwe lunaku lwe yakwasibwa olupapla lw’omubahila olwaliko ennaku z’omwezi 10-June-1988.

Lwo olupapula olw’Abahmadiyya oluyitibwa:Al Fazl International,olwafuluma nga 3rd Sept 1999-12th Sept 1999 lw’asasanya amawulire gano bweluti:

“Illias Suttar akkirizza okusoomoozebwa kw’omubahila okwamuweebwa ekibiina ky’Abahmadiyya”.

Ate yye Mohammed Zakaria Khan kadiyani, Presidenti wa SHAH FAISAL COLONY QADIANI HALQA.Yagamba bw’ati,

“Okuva Illias Suttar lwe yetadde mu mbuga z’amateeka eza Allah, kati Allah agenda kusalawo, ekyo ekituufu ate ekisingira ddala obulungi, Insha-Allah;

Ate yye Faiza Ayesha (omukadiyani) naye yawereza ebaluwa eya e-mail eri Illias Suttar nga 5th October 2002.

“Illias Saheb nga Mirza Tahir bw’alwadde, kisoboka okubeera nga kivudde ku mubahila gwo. Faiza”

faizaayesha@hotmail.com

Amawulire gaatandika okusaasaana:

MIRZA TAHIR MULWADDE OLUVANYUMA LW’ENAKU 20 BUKYA ALANGIRIRA OMUBAHILA.

LONDON 10th –Sept – 1999

Huzoor (Mirza Tahir) yayogeredde akaseera ka dakiika 17-18. nga bulijjo MTA yawerezza ku mpewo okubuulira kuno. Ebikwata ku bulwadde bwe n’okubulawo kwe mu kifo okiyitibwa Alfazal Mosque nga tasaaliramu okumala akaseera, Huzoor yatugambye bw’ati;

“…….wabaddewo ebikyamu ku bwongo bwe, ebikyali ebizibu okunyonyola obulungi.

Ensonga enkulu eleeseewo kino ye ya Jalsa Salana. Mbadde nnina okusisinkana abaami n’abakyala 21,000. obuzito obuli mu kubasisinkana busingira ddala wala nnyo ku obwo obw’okwogerera mu Jalsa. Buli omu ayogera ebizibubye era nnina okuyimirira naye kinnoomu batukube ebifananyi, bwe bityo ebizibu bigenze byetuuma kunze, era n’enfuna ku bwongo bwange akanyigo……..kyenvudde nsalawo nti ky’amagezi obutagenda mu maaso nga nsoma khutubba…..nsaba Allah anfuulire olubuulira lwange luno entandikwa y’obulamu bwange ennungi bwentyo kye nvudde nvaayo munelabireko n’amaaso gammwe mukakase nti ddala ndi mulamu ddala. Ndi mulamu mu bwongo ne mu mubiri era mbagamba nti byenjogera mbitegerera daala bulungi”.

Bino bikopeddwa okuva mu lupapula lw’amawulire olw’Abakadiyani oluyitibwa (Al-Fazl International olwafuluma nga 14th September 1999)

ILLIAS SUTTAR ABUUZA:

Bwebeera nga ensonga eyavaako obulwadde bw’ali bukoowu obwa Jalsa, lwaki obulwadde bwamukwata wayiseewo enaku 20 oluvannyuma lwa Jalsa eyo? Yandibadde alwalirawo mangu ddala ng Jalsa yakaggwa. Ate si ekyo kyokka; Eno Jalsa yali ya 34!. yali alwaddeko oba waliyo Khalifa yenna eyali alwaddeko olwenkuhhaana nga ezo era n’alwalira ekiseera ekiwanvu nga ekyo mu Jalsa 33 ezakayita? Lwaki mu Jalsa eyakaggwa eya 33 omwali abantu 17,500 tewalwala?

Olupapila olwa Buli Week oluyitibwa Khatme Nabuwwat lwo lwawandiika bweluti,:

(London)

Mu makkati g’omwezi ogwa August 1999, omukulembeze w’Abakadiyani, Mirza Tahir bwe yali asoma khutubba mu Ggwanga lya Norway eyamala edakiika 10 zokka, tewali muntu n’omu ku abo abaaliwo eyategeera ekigambo n’ekimu mu ebyo bye yayogera kirabika nti omukolimire ono olulimirwe lwali lusannyaladde. Mangu ddala yatwalibwa mu kibuga London n’abeera mu kaseenge ak’abalwadde abayi okutuusiza ddala nga 9th September. Yali takkirizibwa kulaba muntu yenna yadde okusaala esswala emu bw’eti. Bwatyo bwe yali mu kikolimo kya Allah okumala ekiseera anti yeyakyesabira.

Kiyinzika okubeera ekizibu okumanya kiki Abakadiyani kyebaali balowooza mu bwongo bwabwe abo abaali bakimanyiiko nti oluvannyuma lwe nnaku 20, Mirza Tahir takyasobola kwogera ate nga yali yakamala okulangirira okukolimiragana ne Illias Suttar. Kisaana kitegeerwe nti olupapula luno oluyitibwa Weekly Khatme Nabuwwat bukya lubeerawo, telufulumyangako mawulire gakwata ku kikolimo ekyali kisse ku khalifa w’Abakadiyani yenna. Kuno kwali kusaasira kwa Allah nti omulundi ogusookedde ddala mu byafaayo by’olopapula luno, amawulire ga khalifa okukako ekikolimo kya Allah gaafulumira mu lupapula luno Weekly Khatme Nabuwwat. Edduwa esangibwa mu Qur’aan nga omubahila gukolebwa egamba nti: ekikolimo kya Allah kikke eri abalimba.

Ebbaluwa ya Ahtesham-ul-Haq Abdul 1zari

Mumbai, India

Omu ku abo abalwanyisa Obuhmadiyya/Obukadiyani, omwami Ahtesham-ul-Haq Abdul Bari (nga yali Mukadiyaani) naye yawandiikira Mirza Tahir Ahmad nga 6th August, 2000 bw’ati:

“Oluvanyuma lw’omubahila n’omwami Illias Suttar, okirabye ekikutuuseeko. Embeera y’obulamubwo nga bweyali, naye oluvannyuma lw’omubahila ekikolimo kya Allah kyakka kuggwe mu ngeri ya kugongobala. Kale osabibwa Osiramuke”

Maulana Manzoor Ahmed Chinioti, eyali member wa Punjah Assembly; Secretary General, Internal Rhatme Nabuwwat Movement

“Wakayitawo ennaku 20 zokka oluvanyuma lw’okukolimiragana, Mirza Tahir nnakkibwako ekibonerezo kya Allah. Agongobadde nnyo, Allah asazeewo ani mutuufu era ow’amazima era ayolesezza ani omukyamu era omulimba. Atenderezebwe Allah.

Ogwo omwaka gwa kwenyumiriza eri eyakikirira obusiraamu: Illias Suttar”.

Lwo olupapula oluyitibwa DAILY HINDUSTAN olwafulumira e Mumbai, India nga 23-4-2003 lw’agamba bwe luti:

“Mirza Tahir yalangirira OMUBAHILA ne Illias Suttar, mu lukuhhaana olwa Jalsa Salana olwa 34 mu kibuga Londom nga ali mu maaso g’abakiise 18,000 era byonna byalagibwa buterevu ku T.V. awo mu makkati g’omwezi gwa August 1999, Khalifa w’Abakadiyani bwe yali asoma khutubba mu Ggwanga lya Norway, eyamala edakiika 10 zokka era awo we yakoma olulimi lwe ne lwesiba”.

OKULAMULA KWA MIRZA GHULAM AHMAD KADIYANI

Yagamba:

“Yyeee ddala kino kituufu nnyo nti abalimba bwe bakola omubahila n’abamazima, abalimba bafa so ng’ate bo abamazima basigala bakyali balamu katebule”.

(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky’Abakadiyani ekiyitibwa; Malfoozat omuzingo ogwo 9, empampula: 440-441)

Era Mirza Ghulam Ahmad kadiyani yawandiika mu lupapula oluyitibwa Alhakm Qadian Newspaper nga 10th October 1907 bw’ati:

“Abalimba bafa nga bo ab’amazima basigala bakyali balamu katebule”.

Era bwe kityo ne kituukirira nti :MIRZA TAHIR NAYE YAFA nga ILLIAS SUTTAR akyali mulamu katebule.

Mr. Illias Suttar

President, Sautul-Islam Trust (Regd)

19 Commercial Area, Bahadurabad,

Karachi, PAKISTAN.

Email: illias@super.net.pk

Tel. 4937221

Ab’emikwano abasomi mwenna,

Wetwogerera bino kati waliwo Khalifa ow’okutano nga ye MIRZA MASROOR AHMAD KADIYANI ono ye khalifa omupya era ye muzukulu nnakana owa MIRZA GHULAM AHMAD QADIANI. Ekisinga okwewunyisa nti obukulembeze bw’ekibiina kino bw’abantu ba nnyumba emu era bwe kityo bwe kibadde ne kuluno mu lulyo olulangira olw’obwakabaka bw’Abakadiyani, walondeddwayo nate omukulembeze w’eddiini y’Abakadiyani.

Nange ku lw’ekibiina ekilwanyisa obu kadiyani ekiyitibwa: anti ahmadiyya movement IN ISLAM, muwa amagezi ga bwerere nti, atunulire ekibonerezo okuva ewa Allah omugenzi gwasikidde ye kyafunye ekyo kimuwe eky’okuyiga.Kirabika nti amatidde n’ekibonerezo ekiwereddwa kitaawe, olw’esonga nti, ayisizza ekiragiro ekigaana buli Mukadiyani yenna okukubaganya ebiroowoozo n’Abasiraamu oba okubaako omubahila gwonna gwe betabamu. (nze Khabrain Akhbaar, Islamabad, PAKISTAN).

Ssebo ow’omukwano, mwami Masroor Ahmad Qadiani Saheb!

Ekyo kyokka tekimala okugaana abantu bo okwetaba mu mubahila n’Abasiraamu! Bw’obeera nga ddala omatidde n’obubaka obukujjidde nga buyitira mu mubahila guno, bw’otyo wandibadde olangirira mu lwatu nti Mirza Ghulam Ahmad Qadiani mulimba era bw’otyo osiramuke. Omubahila guno gwali tegukwata ku mazima oba bulimba bwa Mirza Tahir, wabula gw’asinziira ku kusomoozebwa Mirza Tahir kwe yafuna mu 1988 okwali kusinzira ku kibuuzo ekyali nti,: Oba Mirza ghulam Ahmad kadiyani ddala bye yayogera byali bya mazima oba byali bya bulimba. Nawe nkusaba olekulire obu Ahmadiyya era osiramuke. Nyongera okukuwa amagezi abagoberezi bo bonna Abahamadiyya obasabe nabo bakole ekyo kye kimu nga ggwe bwe nkusabye. Insha-Allah, bw’onokola bw’otyo, ogenda kubeera awangudde muno munsi n’oluvannyuma lw’okugivaako. Wabula, singa ekyo okigaano, naawe nkusoomooza n’Omubahila nga owakanya nze kye hhaamba nti,: Mirza Ghulam Ahmad kadiyani yali mulimba mu byonna bye yayogera. Nina esuubi nti obutafananako nga oyo gw’odiridde mu ntebe, ggwe ogenda kubeera n’obuvumu oveeyo buteesagga tukolimiragane mu Mubahila nga okakasa nti,: Mirza Ghulam Ahmad kadiyani, nga gwe Khalifa we, teyali mulimba wabula naye yali Nnabbi wa Allah.

Bw’onokkiriza okusoomoozebwa kuno, ojja kubeera nga ku ludda olumu onywezezza ekifo kyo mu kibiina eky’Abahmadiyya, onywezezza n’okuzzaamu amaanyi mu nzikkiriza y’abagoberezibo ate ku ludda olulala ensi yonna ejja kukimanya nti kakibe ki oba ki, Mirza Tahir Ghulam kadiyani yali ddala Nnabbi wa Allah.

Wassaalam eri abo bonna abagoberera obuluhhamu (hidayah)

Dr. Syed Rashid Ali

P.O.Box 11560

Dibba Al-Fujairah, United Arab Emirates

rasyed@emirates

Weyongere okusoma ebitabo bino wammanga:

Mubahila challenge1992

Mubahila challenge 1995

Mubahila challenge1997

Mubahila challenge 1998

Mubahila challenge 2000

Ahtesham’s visit to London

تاريخ الاضافة: 26-11-2009
طباعة