عرض المقال :OMUTANDISI W'EKIBIINA EKY'ABA
  الصفحة الرئيسية » مـقـالات الموقـــع » كشف البلية بفضح الأحمدية » Non - Arabic Articles » Luganda

اسم المقال : OMUTANDISI W'EKIBIINA EKY'ABA
كاتب المقال: webmaster
LUGANDA

 OMUTANDISI W'EKIBIINA  EKY'ABA

AHAMADIYYA YAVUMA NABBI MUHAMMAD (S.A.W.)

Biwandiikiddwa Dr. Syed Rashid Ali

 

ENNYANJULA

Amateeka gonna ga Allah, ali obw'omu era ali obwa Nnamunigina. Okusaasira n'emirembe bike ku Nnabbi Muhammad (S.A.W) oyo oluvanyuma lwe teri Nnabbi mulala.

 Abangereza bwe b’awamba obufuzi nga ba bunyaga ku Basiraamu aba Ssemazinga wa Buyindi; abasiraamu batandika  okwekalakasa entakera era ne ba lwanilira e Ddiini yaabwe. Kino ky'awaliriza obwakabaka bwa Bungereza okulondawo   akakiiko kabulirize era kazuule awamu n'okutema empenda butya endowooza y'okulwanilira obusiraamu (Jihad) bwe kakkanyizibwa, kabe kasinge, n'okusanyizibwawo ddala. Oluvannyuma olw'emyaka ebiri nga akakiiko kano kakola obutassa mukka, k'awaayo alipoota yaako eri palamenti ya Bungereza ng'omutwe gwayo gwaali  gugamba  bwe guti:

 THE ARRIVAL OF BRITISH EMPIRE IN INDIA

 (OKUTUUKA KW'OBWAKABAKA BWA BUNGEREZA MU BUYINDI)

 Mu alipoota yaabwe eyo mwe batebelereza nti amagezi g'abasiraamu gamala gagobelera mukulembeze mu ngeri ya kizibu kya’amaaso.Era kye baava bawa amagezi nti wanonyezebweyo omuntu bbo gwe baayita omutuufu ng'ayinza okweyita Nabbi era ng'asobola okutuukiriza ekyo kye baatebereza. Mirza Ghulam Ahmad ye yalondebwa okukola omulimu ogwo olw'ensonga nti bajajjaabe baalina olujegere olw'amanyi olwabayunganga n'Abangereza, Era baatunulira embeeraaze ez'obutamanya Ddiini. Wabula nga munyikivu ku ddiini eyo bwe batyo  ne bamulabamu  embeera z'omuntu gwe baali banonyeza ddala era eyali asobola okutuukiriza ebyo byonna bye baali bagala ate nga yali mwetegefu  okubayamba  mu  byonna.

 Nga wayiseewo emyaaka, Mirza yawandiika ebbaluwa nagiwereza Gavana Jenero ow'essaza lye Punjab nga akakasa ekyo kye yali eri Abangereza, era yabagamba nti ye, Y'ENDOKWA EYEEMEZA YOKKA EY’OBUFUZI BWA BUNGEREZA. Ebaluwa eno kitundu mu kitabo Mirza kye yawandiika ekiyitibwa Kitab-ul Bariyyah, Rooham Khazain Vol 13 P 350. obujulizi obwo obuli mu kitabo ekyo  bweyolefu eri oyo yenna  ayagala okumanya amazima. Bwe batyo kye baava ba mupangawo atandike ng'omuwereza w'obusiraamu n'oluvannyuma yefuule nga ye w'okubuzza obupya era bw’atyo agendelere nga yefuulafuula ng'eno bwayingira emitendera egy’enjawulo mbu nga gyonna Katonda amala kutuma  bubaka  gy'ali- Mirza.

Embeera nga zino ez'obutabufu bw'omutwe ze zamuwaliriza okugenda mu maaso awataali kutya na kusonyiwala ne yepaatiikako  emitendera  egyo egy'enjawulo. Yatandikira ku kweyita omuwereza w'obusiraamu  era omuwereza wa mutume, wuuyo mbu ye Mujadid ow'omulembe guno  era  mbu yeyatumwa okujja okuzza obupya eddiini y’obusiraamu n'okubulung’amya mbu, mu kkubo  eggolokofu. Teyakoma awo wuuyo alanze atandise okweyita Muhaddith mbu afanana Isa ibn Maryam ate oluvanyuma ne yeyita Maryam. Bwe yamala ate ne yeyita  nti  ye Isa ibn Maryam (Masiih eyalaganyisibwa) oluvannyuma olw'okweyita ebyo waggulu yatandika okukola ‘akotogo n'omugoyo’ n’alyooka yeyita Imam Mahdi- Nnabbi, omutume, Adam, Seth, Nuhu, Ibrahim, Isa'ak, Ismaelah, Yusufu, Daudah, Sulaimani, Lord Krishan, Jai Singh Bahadur nkugambye!! Tewali kigingi kyali kisobola kumuziyiza kweyita buli ekyamujjiranga mu bwongo!! Oluvannyuma katweewungu ono  yeyongeza ebitiibwa ebilara by'ataali wuuyo okutuusa lwe yeyita nti ye NNABBI MUHAMMAD eyali akomyeewo omulundi ogw'okubiri, kyeyava awandiika mu kitabo kye ekiyitibwa Roohani Khazain bwati;

Oyo yenna ateekawo enjawulo wakati wange ne Mustafah, abeera tandabangako wadde okunetegereza.

 [Bikoppeddwa mu kitabo ekyaba Kadiyani ekiyitibwa Roohani Khazain omuzingo 16 P. 259]

Mirza Ghulam Ahamd ye yatandiikawo ekibiina ekiyitibwa Ahamadiyya Muslim Mission nga kati bukya kitandiikibwawo gisoba mu myaaka ekikumi (100+years) era ekibiina kino kyeliisa nnyo enkuuli ne kiyita nakuli, [ng'omufu awunya], mu biseera Abangereza we bafugira Buyindi era na bulikati kilabilirwa awamu n'okuvujjilirwa omusimbi omungi okuva mu Bungereza. Era oluselegendde olw'abo abakilabilira munsaangi zino lweyongedde okuwanvuwa ng'abamu  kubo abalulimu beebo abalina okutya nti singa obusiraamu buneyongera okusomesebwa, ne bugaziwa awamu n'okukulakulana ebigendelerwa byaabwe bituuse okufumwa obufumwa. Wabula abalabe b'obusiraamu abo bakimanyi bulungi nti singa omuntu yenna ayingira obu Ahamadiyya abeera si musiraamu.

Ba Masheikh abakulu abamanyi b’obusiraamu mu nsi yonna begattira wamu mu lukungaana olw'abamanyi olwatuula mu 1974 mu kibuga ekikulu Makkah-al-Mukharramah nga lwetabwaamu abamanyi abaava mu mawanga g'obusiraamu 124, mu lukiiko lwabwe oluyitibwa Rabita al- A'lam al Islami, nti MIRZA GHULAM AHMAD YAVA DDA mu BUSIRAAMU (Murtad) ERA MUKAFIIRI ERA N'ABO ABAGOBEREZIBE KA BABE NGA BEYITA BA KADIYANI OBA BA AHMADIYYA OBA BA LAHORI ABO  BONNA   SSI   BASIRAAMU .

Aba Ahamadiyya  munsangi zino bagenda balimbalimba bambi abasiraamu naddala abo abataafuna mukisa kusomesebwa ddiini yaabwe ey'obusiraamu era ne bakozesa n'embeera y'obwaavu  obuyitiridde  obuli  mu  basiraamu  mu byaalo nga babawa obuyambi gamba nga obw’okubasomeseza  abaana ku bwelere okuzimba amalwaaliro n'ebilara ng'ebyo bibasobozese okubasendasenda era n'ebitabo byabwe; ng'ojjeeko ebyo bye bakweeka, nga Haqeeqat-al wahayi, Khutbah-e- Ilhamjah, Kalimatul Fasl, EK Ghalti ka izala, Brahiin-e-Ahmadiyya Roohani Khazain  n'ebilala naye byonna ebisigaddeyo, naddala bye bagaba munsangi zino byo bisiigabusiizi mukama waabwe Mirza Ghulam Ahmad muzigo na kulaga nsi nga bwe yali omuntu eyakolelera ennyo obusiraamu  n'okubwaagala. Naye bewalira dda okubaako kye bawandiika  ku bigaambo ebyayogerwa mukama waabwe Mirza Ghulam Ahmad nga bisangibwa mu bitabo ebyo ebyogeddwako waggulu n'ebilara bingi nga bwe tunagenda  tubibabyooleka.

 Emabegako, mu myaaka mitono egyakayita waliwo obupapula  obwaali  busaasaanyizibwa mu  nsi yonna nga abekibiina ky'aba Ahamadiyya be baali babugaba ku bwelere. Bwaliko  omutwe  ogugamba nti Ahmad in praise  of  Muhammad  (amakulu: Ahmad nga bwe  yatendereza Muhammad)

Ku lw’abo abatamanyi  bya buwangwa bya nsi ezo azetolodde Buyindi, katubayambeko okubannyonnyola ebikwata ku mannya nga Ghulam Ahmad, Ghulam Rasuul oba amannya nga  Ali aba Abdul Rahman  n'amalala ng'ago.   Amannya  ago  gaba    mannya magatte era gegano: Ghulam (muddu) Ahmad (owa Ahmad); ng'era ne Ghulam Rasool bwe kitegeeza omuddu wa Rasuul, Ghulam Ali kitegeeza Omuddu wa Ali oba omuwereza wa Ali  ne  Abdul Rahman nakyo bwekityo bwekiri.

Kale kiwaawaaza amatu okuwulira omuntu eyeeyitanga Ghulam Ahmad Omuddu wa Ahmad ate  ne  yeefuula era  ne  yeyita  nti  kati  ye  Ahmad!

Ddala kisoboka omuddu okwenkanankana ne mukamaawe!? Akatabo ako (Ahmad in praise of Muhammad) kaawandiikibwa Mirza Ghulam Ahmad Kadiyani ng'ono ye mutandiisi w'ekibiina eky'aba AHMADIYYA  MUSLIM MISSION. Era  kaagezako nnyo okumetta ebizigo omukulembeze waabwe nga  bwe kawa ebifananyi ebilaga nga Mirza bwe yali ayagala ennyo Nabbi Muhammad (S.A.W.), eyatanderezanga ennyo Allah , Qur'aan n'obusiraamu, wabula abasinga kye batamanyi ge mazima nti obulamu n’obuwangaazi bwa Mirza   bw’ayawulwamu emiteeko esatu. Era gye gino:

 1. Omuteeko ogusooka ky'ekiseera nga tanaba kuva mu Busiraamu. Ekyo nno ekiseera kiviila ddala mu buto okutuusa mu  myaaka  egy'obukulu. Olw'okuba Mirza yazalibwa mu maka amasiraamu ama Sunni, yali omusiraamu  omujjumbize era mu kiseera kino mwe yawandiikira ebitabo ebyaali bimwogerako ng’omusiraamu  eyali ayagala ennyo Nnabbi Muhammad (S.A.W.) era ng'eyali omunyweevu gguluggulu ku ddiini owa Ahli Sunnah wal Jama'ah era eyali yettanira ennyo okuwelereza obusiraamu. Mirza tewaliwo ssomero lisomesa Ddiini (madarassah) lye yali asomeddemu, wabula yasomerasorako awaka, era teyatuulako mu maaso ga Shaikh. n'omu n'amusomesa Tariqah. (ebyaafaayo )               Bw'atyo bambi natafuna mukisa kulambikibwa na kukumwakumwa mu  by’okulyoowa emyooyo nga bwe yali enkola mu biseera ebyo. Wabula ye musajja wattu  yeyambayambanga yekka ku buli kitabo kye yagwikirizanga nga ye bambi asoma busomi ssi nsonga oba bayali biwandiikiddwa balabe ba Busiraamu  oba nedda. Bw’atyo n’atafuna kulung’amizibwa kutuufu era buli ekyamujjiranga mu  bwongoobwe ye kye yasalangawo awataali na kufumintirizanga. Ekyo nno ky'ekiseera we yatandiikira okuwasa naye, nga kyali kizibu okumutegeera  kiki  kye  yali.

 2. Ggwo omuteeko ogw'okubiri ogw'obuwangaazi bwa  Mirza kye kyaali ekiseera we yatandiikira okwolesa obunnanfuusibwe era n'atandika okwegaana ebyo bye yali  asoose okwogera n'okuwandiika. Nga wayiseewo ekiseera bw’atyo yeyoongera okujeema n'okufuuka kiwagi era  bw’atyo yagenda mu maaso  okwogera  wamu n'okufulumya ebiwandiiko ebivvoola , okukyankalanya wamu n’okufutyanka obusiraamu. Kino nno ky'ekifananyi eky'embeera Mirza Ghulam Ahmad gye yali atuuseemu era ab'ekibiina ekya Ahmadiyya Muslim Mission kye batayagalira ddala kwoolesa eri abantu. Era balafuubana nnyo okulaba nti tewali kiwandiiko kyonna mu biwandiiko bya Mirza eby'ekiseera ekyo ebyali bifulumiziddwa ne bilagibwa abantu okujjako bino ffe bye  tutandiise okuvvunula nga tubigya mu Lurimi olu Urdu ebimaze ebanga ng'ekibiina ky'aba Ahamadiyya kibikusise.

 3.Omuteeko ogw'abuwangaazibwe agw'okusatu gwegwo ogukwaata ku mbeera z’obulamu bwe era Mirza Ghulam Ahmad we yawandiikira nakkiriza nti yali mulwadde olukunkumuli lw'endwadde nge’ezimu  zatuuka n'okumunafuya ate oluusi n'okumutabula obwongo!

Mu zimu ku ndwadde Mirza ze yalwaala mwe muli zino:-

Melancholia (Manial Depressive Psychosis) 

(             ) Mirraq (Hypochondriasis) (                 ) Amnesia (        ) Forgetfulness(           ) Insomnia (        ) Hysterical fits (        ) Nervous Breakdown ( obulwadde b'wokuko) Dizziness (Kamunguluze) Diabetes  Mellitus ( obulwadde bwa Sukaali) Excessive urination of up to 100 times per day (okukunkumula omusulo emilundi egisoba mu kikumi buli lunaku)  yemulugunyanga entakera nti yagwebwangamu nnyo amaanyi g'ekisajja era nga tasobolera ddala nakugezaako "Kukiika mbuga ‘yadde okukombyaako". Emirundi mingi yanyumyanga amalagala ag'enjawulo ge yakozesanga  oba okulagira abalala ne bagamutabulira. Mu gamu ku malagala ag'amaanyi ge yakozesaanga mwe muli gano:  Tonic wine (lino lyongeza amaanyi mu muntu) ne Opium (nga kyo kino kika kya njaga) era yateranga okunyumya ng'agamba abantu mbu Malaika yeyamuyigirizanga mu birooto butya bw'anatabulanga eddagalarye ely'okumuyamba okufuna amaanyi g'ekisajja. Yagamba mbu olunaku lumu Katonda yamulagira mu kirooto atabule eddagala limuyambe okufuna amaanyi g'ekisajja kyokka opium (enjaga) teyabulamu era yeyasing’angamu obungi.

 Abaffe katweebuuze:- Ddala Mirza yalina okwagala okusukkiridde eri Nnabbi (S.A.W.) Era ddala oyo naye mbu yali Nnabbi nga ye bwe yeyitanga? Abaffe ddala Mirza yali afuna obubaka okuva ewa Katonda? Nandiiki, ebikolwaabye byaali bikolwa bya mutabufu bwa mutwe  olw'okukozesanga enjaga ne waragi?

 Mu mpapula ezinadilira ng’enda okwongera okwoleka ebimu ku bigambo ebyakoppwa okuva mu bitabo ebiwelako nga byawandiikibwa MIRZA GHULAM AHMAD, kilyooke kisigalire eri mmwe abasomi baffe okwesalirawo ku kiki ddala omusajja ono kye yali. Era omu kummwe kimu*****ire eky'obuvunanyizibwa okwesalirawo oba ddala obyawandiikibwa eby'omutandisi w'ekibiina ky’abwe bwaali butamanyabwe oba ddala ekibiina eky'aba Ahmadiyya kigendelera bugenderezi okubikkilira n'okukusika obulimba buno obw'atekebwatekebwa obulungi.

 EBYA MIRZA GHULAM NE KATONDAWE

 Nga bakozesa ebiwandiiko by’abwe ebya pokopoko, aba Ahmadiyya bewaana ng'omutandisi w'ekibiina ky’abwe bwe yali ayagala ennyo era n'okutendereza Allah, wabula, bw'osoma ebitabo eby'awandiikibwa Mirza Ghulam Ahmad era ye byagamba mbu bwaali bubaka (WAHYI) era mbu yafunanga n'okubikkulirwa (REVELATIONS and INSPIRATIONS) ojja kukisanga nti byonna bye yagamba mbu bwaali butume na bubaka byaali bimulambika bimuzza mu kkubo elyaali  e ddala. sso ssi kkubo eggolokofu.

 Mirza atugamba bw’ati  mu  bimu  ku  bitabo bye:-

"Olunaku kumu nze nalabira ddala mu kilooto nga nfananira ddala Katonda era bwentyo ne nzikkiliriza ddala nti obwa Katonda bunyingidde mu misuwa mwonna era mu mbeera afanana bw’eti mwe nayogelera nti twetaaga eggulu eppya wamu n'ensi empya. Era bwe ntyo ne ntonda eggulu n'ensi.

 (Bino byakoppeddwa okuva mu kitabo ekyaba Kadiyani ekiyitibwa Roohani Khazain omuzingo 13 page 103). Ate yye ow'omukwano ng'ali nnyo ku lusegere ne Mirza ng'ayitibwa Qazi Yar Mohammed Kadiyani, mu kataboke akayitibwa Islam Quarbani, atunyumiza bino:-

"Olunaku lumu Hazrat Maseeh Mowood (Mirza) yatubulira embeera eyamutuukako ng'afuna obubaka. Embeera gye yalimu yali ng'eyo ey'omukyala era  Katonda n'alyoka ayolesa amaanyi g'ekisajja eri Mirza. Ne bwe songerako ekyo kimala bumazi eri abo abasobola okutegeera".

(Bino byakoppeddwa okuva mukitabo eky’aba Kadiyani ekiyitibwa : Tract No. 34, Islam Quarban P. 12 nga kyawandiikibwa Yar Mohammed Qadiani, ow'omukwano nfaanfe owa Mirza Ghulam)

(Subhaana- Allah! Mulabe Katonda banange nga bwe bamutaddeko ogw'okulya ebisiyaga! Nsaba Allah atukingirize endowooza n'enzikkiriza ez'ekigwenyufu ng'ezo).

 OBUBAKA MBU KATONDA BWE YAWA MIRZA

 Mu kitabokye ekiyitibwa Haqeeqat-ul wahyi, Mirza atugamba mbu Katonda yamugamba bwati:

"Owange ggwe Mirza! Eggulu n'ensi nga bwe biri nange, na byo bwe biri ku ggwe. Gwe wava munze ng'obw’omu bwange era ng'obwa Nnamunigina bwange. Ggwe wava munze nga Namulondo yange bwe y’anvaamu. Ggwe wava munze nga mutabani wange…. Nze nkola ensobi era mungeri y'emu ntuukiriza…Nze nsiiba era mungeri y'emu nze ne nsiiburukuka…Ffe tukuwerezza amawulire gano amalungi: ogenda okuzaala omwana omulenzi agenda okubeera nga wamazima (HAQ) era ow'ekitiibwa (the MAJESTY) nga tewali njawulo ne KATONDA ng'asse okuva mu Ggulu. Ffe amawulire ge tukuwa ga mwana mulenzi".

(Bino bikoppeddwa  okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa: Haqiiqat-ul; Wahyi, Roohani Khazain, omuzingo 22 olupapula 79-99).

 MIRZA GHULAM AHMAD BYE YAYOGERA KU NNABBI MUHAMMAD S.A.W

 Ebitabo bingi ebya pokopoko ebisaasaanyizibwa aba Ahmadiyya era bijjudde ebigambo  ebimatiza omuntu nga bikkatiriza nga Mirza bwe yalina okwagala okuyitirivu eri Nnabbi Muhammad (S.A.W) Wabula bw'ofuna omukisa n'osoma ku bitabo Mirza bye yawandiika,  mangu nnyo okizuura ng'ekifaananyi kya Mirza kyawufu nnyo okuva ku ekyo ekibiina ky’aba Ahmadiyya kye batuwa.

Bino wamanga byakoppwa okuviira ddala mu bitabobye byennyini era bitulagira ddala ekifananyi ekyewunyisa ate nga kyawukanira ddala  n'ekyo ekibiina ky'aba Ahamadiyya kye  kituwa. Mu  bimu ku bintu ebisinga okusamaliriza kwe kubeera nti Mirza yakyuukyuusanga ebyo bye yeyitanga. Yasoka kweyita OMUWEREZA WA AHMAD (MUHAMAD) oluvannyuma omukwano gwe yalina eri Nnabbi mbu gw’amubugaana.Wuuyo atabuse ate kati yeyise Muhammad (S.A.A.W) Naye   abagobelezi be (abakadiyani, oba bayite aba Ahmadiyya, oba aba Lahori, oba kale bayite aba Mirzayi) ebyo byonna oba babimanyi!? Bwe babeera nga babimanyi lw’aki Ddala kale babikkilira n'okukusika ebigambo ebivundu ate nga bya kigwenyufu ebifanana ng’ebyo?

 MIRZA YAGAMBA MBU YE MUWEREZA ERA OMUKWANO GWE NE NNABI (S.A.A.W )  ‘GUBASAZA  MU  KABU’

 Nga bwe by’awandiikibwa mu katabo ak'aba Ahmadiyya akayitibawa akhbar Alhakm Qadian, omuko ogwa 23,Mirza yasooka kweyita mbu ye Ghulam(omuddu) owa AHMAD (S.A.A.W) yagamba bw’ati : "omwetoowaze wabwe ono ssi NABBI ne wankubadde OMUBAKA,wabula ye MUWEREZA WA NABBI OWA WANSI ENNYO era OMUGOBEREZI WE…"

(Bino bikoppeddwa okuva mu katabo ak'aba Kadiyani akayitibwa: statement of Mirza Ghulam Ahmad, Akhbar Alhakm Qadiam No.23 vol.5)

Teyakoma awo wabula yeyoongera okugamba abagoberezibe bwati:

"Oluvanyuma lwa Katonda, tewali mulala gwenjagala nga Muhammad. Bwe kibeera nga kino kigambo kya buttakkiriza, mbalayilira oyo ey’antonda nti buno bubeera  butakkiriza obw'ekika ekya waggulu".

 (Bino bi kkoppeddwa okuva mu katabo ek'aba Kadiyani  akayitibwa: sayings of Mirza in pamphlet "Ahmed in praise of Muhammad P.1).

 Bwe yamala okumatiza abagoberezi be nga bwe yali mbu ayagala ennyo Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) ate yataama butaami: anti yabagamba nti ate okwagala kwe yalina kwayita nawo kuukwo ku musitudde okutuusa lwe kwamufuula Muhammad. Mirza yagamba bwati:-

"Era Allah yassa kunze ekyengera eky'obwa Nnabbi owekitiibwa era n'akijjuza era n'ampa ekisa n'okwagala ng'okwo Nnabbi ow’ekisa oyo yenna eyegatta ku kibiina kyange (eky'aba kadiyani) abeera ng'afuuse omu ku ba swahaaba ba mukama wange- oyo asinga ba Nnabbi bonna. Kino kyeyolefu eri abo abalina obusobozi obw'okufumintiriza ku bigambo bino [n'abalala mu bo] kye bitegeeza. Omuntu oyo yenna ayawula wakati wange ne Mustafa (ntegeeza Nnabbi (S.A.W.) abeera nga tannantegeera yadde okundabako.

(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani vol. 16 pp. 258-259)

w'ayitawo akaseera mpa we kaaga, olwo Mirza n'atabuka wuuyo atandise okweyita Nnabbi S.A.W. bw'atyo eyali GHULAM (Omuddu) kati ate YAFUUKA OMUKULU.

 MIRZA   GHULAM  ATANDIKA OKWEYITA         MUHAMMAD S.A.W

 Mirza yagamba bwati:

"Muhammad-ur-Rasuulullah wal-ladhiina ma'ahu   alal  kuffar   ruhamaa'u   bainahum"

mu bubaka buno Katonda y'antuuma Muhammad era mu negri yeemu n'antuuma omubaka

 (Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo ky'aba Kadiyani ekiyitibwa; Roohani Khazain vol. 18p. 207).

 Mirza Ghulam y'eyongera okugamba bwati:

"Ow'ekitiibwa Nnabbi yajja mu ngeri biri-oba ka ng'ambe nti mu lujja luno olw'okubiri olwa Burrozi, okwo kwe kudda okwa Nnabbi okwasubizibwa era  kw'atuukirizibwa, bwe yajja oyo masiih era mahdi eyasuubizibwa".

Bino bikoppeddwa okuva  mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 17p. 249).

 Era yagamba bwati:

"Nze (Mirza Ghulam Ahmad) nkiding'anye emirundi mingi nti okusinzira ku aya eya Qur'an "Wa akhareena minhum iamma yalhaqoo behim" Ye nze Buroozi era emabegako mu myaka 20 egiyiseewo, Katonda y'antuuma MUHAMMAD era AHMAD mu kitabo kye ekiyitibwa Braheen-e-Ahmadiyya era n'alangilira nti nze Katonda

 (Bino by'wandikibwa mu kitabo eky'aba Kadiyani kiyitibwa Aik-ghalti ka azala, Roohaan Khazain vol. 18 p. 212.

 Mirza teyakoma awao! Yeeyongera n'agamba bwati:

"Nnabbi (S.A.W.) yazalibwa emirundi ebiri: nga Nnabbi ate mu ngeri endala ky'asuubizibwa nti Nnabbi (S.A.W) agenda kuzalibwa omulundi ogw'okubiri era kino ky'atukirizibwa bwe yafuusibwa era n'azalibwa nga yye ye masiih era mahdi eyasuubizibwa."

(Bino bikoppeddwa okuva okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa: Tohfa-e-Golravia, Roohani Khazain vol. 17 p. 249).

 Era Mirza bw'atyo ne mu kitabokye ekiyitibwa EK Ghalti ka izala, Roohani Khazain vol. 18 page 212 yagamba bwati:

"Bwe mbeera nga nze eyafuusibwa Nnabbi era bwe bibeera nga eby'atuukirizibwa ebya Muhammad nabyo bitwalirwaamu n'obw'obu Nnabbi nga bwe byeeyolekera mu kifananyi ky'ekisikirize kyange, kale ate ani oyo eyeepaatiseeko obwa Nnabbi omulala?".

 Bwe bityo ebiwandiiko n'enzikkiriza ng'ebyo eby'awandiikibwa Mirza Ghulam Ahmad bye by'awaliriza abagoberezibe okwolesa mu lwaatu enzikkiriza y’abwe awatali  kwemotyamotya era ekyo kyabawaliriza okugamba bweebati:-

"Ddala kituufu Mirza Basheer Ahmad ( ng’ ono ye mutabani wa Mirza Ghulam) yagamba bwati:-

"Masih Mowood ssi wanjawulo ne Nnabbi (S.A.W), wabula bafananira ddala era yye , y’akomyeewo mu nsi muno ng'ali mu kifananyi kya Buroozi…. N'olwensonga eyo mmwe mulaba waliwo okubuusabuusa kwonna nti Katonda nate tatusidikidde Nnabbi mulala eno ewaffe mu Kadiyani?"

(Bino By'awandiikibwa mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa: Kalimat Alfasl pp. 104-105, Review of Religions Qadian March 1915)

 Mirza yeeyoongera okutabuka, n'agamba bwati:-

"Kakati Kino kyelaga kyokka nti bwe kibeera nga okuwakanya okukkiliza mu Nnabbi  ow'ekitiibwa nga kigambo kya BUKAAFIRI, olw'ensonga nti oyo Masiih eyasuubizibwa si wanjawulo ne Nnabbi wabula  nga  be bamu era bw'abeera ng'oyo agaana okukkiliriza mu Masiih eyasuubizibwa ssi MUKAAFIRI kibeera bwe kityo nti n'oyo aba awakanyizza Nnabbi tabeera MUKAAFIRI.)

(Bino bikopppedwa okuva mu kitabo ky'aba Kadiyani ekiyitibwa:Kalimat Alfasl.pp.146-147.Review of religion,Qadian,march-April1915)

Era yagamba nti:              

‘Waliyo okubuusabuusa nti katonda teyasindika nate Muhammad (S.A.W)  e kadiyani asobole okutuukiriza ekisuubizo kino?"

(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo ky'aba kadiyani ekiyitibwa:Kalimat al Fasl ekya Mirza Basheer Ahmad. Review of religions p.p.105 No 3 omuzingo 14).

 MIRZA AGAMBA MBU YE NE NNABBI MUHAMMAD (S.A.W)   BENKANANKANA.

 Mirza yakozesa nnyo akakodyo k'okwefanaanyiriza Nnabbi. Era kyeyava agamba nti:-  

"Oyo yenna ateekawo enjyawulo wakati wange ne MUSTAFA (S.A.W.), abeera tandabangako yadde okunnetegereza".

(Bino bikoppeddwa okuva  mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa Roohani Khazain, omuzingo 16 p. 171).

 Ate lwo olupapula olw'amawulire olutongole olwoogelera aba Ahmadiyya oluyitibwa Al-Fazl lw'awandiika bwe luti:-

 "Ekifananyi ky'oyo Masiih eyalaganyisibwa (Mirza) mu maaso ga Allah, tekirina njawulo n'ekya Nnabbi (S.A.W) oba ka tugambe nti mu biwandiiko ebiri ewa Allah, tewaliyo ndabika ndala oba enjawulo wakati w'oyo eyalaganyisibwa ne Nnabbi Muhammad (S.A.W) wabula, bombi balina ekitiibwa ekyenkanankana  era n'eddaala ly'abwe bali ku limu;  ekifo wamu n‘elinnya ly'abwe byombi by'ebimu. Ne wankubadde nga mu bigamba byaabwe tebafanana, naye ate mu mibiri baali omuntu omu  era  be bamu.

(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa Al-Fazl, Qadiani, vol. No. 37  era ne kiwandiikibwa ne mu lupapula lwaabwe olw'amawulire oluyitibwa Qadiani Mazhah ku p. 207, 9th Edition, olwaafulumira mu kibuga Lahore- Pakistan nga 16th September, 1915).

 

SHAHAADAH Y'ABA QADIAN

 Ebiwandiiko ebifanana ng'ebyo bye tulabye waggulu bye bimu ku ebyo eby'aletera abagobelezi b'omusajja eyatandikawo ekibiina kyaba AHMADIYYA MUSLIM MISSION okufuna era n’okuteekawo enzikkiriza yaabwe  bwe   b’agamba   bwe   bati:

"Masiih eyalaganyisibwa bw’amala okujja enjawukana emu ye yafunibwa (ng'ekwata ku makulu ga Kalimat shahaadah) era ekitegeezebwa kiri nti nga Masiih eyalaganyisibwa tannatuuka, ba Nnabbi bokka ab'emirembe egyayita bebateekebwa mu makulu g'ekigambo kino: "Muhammadur Rassulullah"

NAYE, Masiih eyalaganyisibwa bw'amala okutuuka, NE KWONGERWAKO KU MAKULU G'EKIGOMBO MU HAMMADUR RASSULULLAH EKIGAMBO "NNABBI OMULALA OMU….ne kibeera nti omuntu yenna okusilamuka, Shahaadah eyo y'emu gy'alina okwogera, ng'enjawulo yokka eliwo kwe kwongerwako okwa Nnabbi omulala (Mirza Ghulam) ku makulu g'ekigambo ekyo oluvannyuma lw’okutuuka kwa masiih eyalaganyisibwa…tetwetaaga Shahaadah ndala yonna, olw'ensonga nti Masiih eyalaganyisibwa si wanjawulo ku Nnabbi ow'ekitiibwa (S.A.W), era nga bwe yagamba "Saara wajoodi wujoodahoo (omubiri gwange gw'afuuka ogugwe) era oyo yenna atwawulayawula: nze ne Mustafa abeera tampadde kitiibwa yadde okung’ulumiza ….kale oyo Masiih eyalaganyisibwa ye Muhammad Rassullullah yenyini akomyewo nate mu nsi muno asasaanye obuyisiraamu, n'olwekyo ffe tetwetaga Shahaadah ndala yonna.  Yyee! Ekyo bwe kiri ssinga  waali  kubeerayo muntu mulala nga yatujjidde, twandiibadde (shahaadah endala)   tugyetaaga…kale mwenna mufumintirize!!.

(Bino bikoppeddwa okuva  mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa Kalimat-ul Fasil ku page 158 ekya Mirza Basheer Ahmad (mutabani wa Mirza Ghulam)

 "Oluvannyuma lw'okuzaalibwa kwa Masiih eyalaganyisibwa (Mirza omukadiyani) w'abalukawo enjawukana (Ng'ekwata ku makulu ga Shahaadah). Nga Masiih eyalanganyisibwa  (Mirza omukadiyani) tannazalibwa mu nsi, nga Nnabbi, ebigambo "Muhammadur Rassuulullah" byaali bigatta amakulu gaabyo n’abo ab'amusooka; naye  oluvannyuma lw'okufuusibwa kwa Masiih eyalaganyisibwa (Mirza Omukadiyani) muno mu nsi nga Nnabbi, ekyo ky’aletera amakulu g'ekigambo Muhammadur Rassuulullah okwongerwaamu Nnabbi omulala omu. N'olweekyo, olw'okufuusibwa kwa Masiih eyalaganyisibwa, Shahaadah, tegobebwa; wabula yeyongera kumasamasa  nnyo. Mu binpimpi,shahaada eyo esigala nga y’amanyi n’eri Omuntu oyo ayingira obusiraamu. Enjawulo yokka eriwo y'eyo ey'okwongerwaamu Nnabbi OMU mu makulu g'ekigambo Muhammadur Rassuulullah oluvannyuma lw'okufuusibwa kwa Masih eyalaganyisbwa (Mirza omukadiyani)"

(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani eky’awandiikwa mutabani wa Mirza Ghulam ayitibwa Mirza Bashir Ahmad ekiyitibwa Kalimat-ul-Fasl ku page 158.

 "Ka nyongereko ne kino: ne  bwe twandikkirizza, nga tutebereza ekyo ekitasoboka, nti erinnya lya Nnabbi ow'ekitiibwa (S.A.W) ly’ayongerwa ku Shahaada olw'ensonga nti  yye  ye w'enkomelero mu ba Nnabbi; era ekyo tetukisangamu kabi era tuba tetwetaaga Shahaadah ndala olw’ensonga nti Masiih eyalaganyisibwa y'omu ne Nnabbi ow'ekitiibwa ng'era ye (Mirza) yennyini bw'agamba: " Nga bw'olaba nze  bwendi tewali njawulo ne Muhammadur Rassuulullah". Era  "Oyo yenna atwawulamu wakati wange ne Mustafa abeera t’ampadde  kitiibwa yadde okung'ulumiza" Era  eky'ava mu kigambo kino kwe kubeera nti ow'ekitiibwa Allah yasuubiza nti agenda kunfuusa mbeere ‘KHATAM UN NABIEEN’ muno  munsi omulundi omulala nga Nnabbi ng'obukakafu tubufuna mu kigambo ‘ N'abalala mubo…’Bwe kityo ne kiba nti  masiih yalaganyisibwa (Mirza omu Kadiyani) muye  mulimu  ne  Muhammadur Rassuulullah , oyo Masiih eyafuusibwa mu nsi muno nate asassaanye obusiraamu. Kale tekitwetagisa  kubeera na Shahaadah mpya nate. So ng’ate ssinga yali nga muntu mulala yeyafuusibwa n'atabeera Muhammadur Rassuulullah, kyandyetagisizza Shahaadah endala. Kale mufumintirize.

(Bino nabyo by’akoppwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa Kalimatul Fasl, page 158)

 ABA KADIYANI NGA BWE BASAALIRA NNABBI MUHAMMAD (S.A.A.W)

 

Bo aba Kadiyani oba aba Ahmadiyya bagamba nti: okusinziira ku aya eri mu Surat-ul Al-Ahzaab 33:56 baggivvunula nti: Mazima Katonda ne ba malayikabe baagaliza Nnabbi emikisa. Abange mmwe abakkiriza! Mumusabirenga  emikisa  era mumulamusenga [olulamusaanira]era n’okusinziira ku ezo hadiiths omuli ebilagiro ebilagira oku weeleza  Nnabbi (S.A.A.W) Ssalaam,era ne bwe kityo tulagirwa okuwereza Ssalaam eri  Hazrat masiih mowood nga nakyo kino kyetagisa nga bwe kiri ne ku Nnabbi(S.A.A.W)                                  

(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa: Risala Durood Shareef, eky'awandiikibwa Mohd Ismael Qadian p. 136)

 

Era bo aba Kadiyani bagamba nti "okusinziira ku bitabo eby'obusiraamu ebya Hadiths  kyetagisa bwe tubeera nga tusabira Nnabbi (S.A.A.W) tugatteko n'abantu  b'ennyumbaye. Era mungeri y'emu ate nga nakino nakyo kikulu nnyo, kyetagisa nnyo okuwereza okusaba emirembe eri Masiih Mowood kino kitusobozese obutabeera n'obutamativu mu kusaba emirembe okugatte eri Mirza. Ky'ava Hazrat Masiih Mowood atugamba bwati "Ebimu ku bintu abo abawakanyi abasirusiru bye bogera; bagamba nti abagoberezi b'omusajja ono (Mirza) bakozesa ebigambo ["Alaihe asswalatu w'assalaamu) era nti okwogera kino kiri HARAM. Abo mbaddamu bwenti "Nze Masiih eyasuubizibwa, ate nga  ssi  ekyo kyokka eky'okuwereza Ssalaamu, wabula ne Nnabbi (S.A.A.W) naye yakikkatiriza nti oyo yenna anazuula Masiih  omuwereze ssalaamu yange (Nze Nnabbi: era kisangibwa mu nkumi n'enkumi za Hadiths nga ssalaamu ewerezebwa eri Masiih eyalaganyisibwa. Kale bwe bibeera ng'ebigambo ebifanana bwe bityo nga bye by'ogerwa Nnabbi (S.A.A.W), ba swahaaba, ne Allah yenyini n'ayogera ku nze; kale kiyinzika kitya okubeera haramu eri ekibiina kyange (eky'aba Ahmadiyya) okw'ogera ebigambo ng'ebyo ku nze?"

(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa Risala Durood  shareef ,Arb’een No2.Roohan Kazain Vol.17 p349)

 MIRZA YABBA AYA EZA QUR'AAN N'AZEPATIIKAKO.

 Omusajja ono eyelangilira nga bwe yali ayagala ennyo Nnabbi (S.A.A.W) yabbinkira nnyo mu kiwarazima ky'okwagala kw'omwooyogwe okutuusa lwe yatandika n'okugamba nti afunye obubaka obuva mbu ewa Allah nga  bumugamba mbu aya zonna ezakka nga zitendereza Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) kati mbu zikyusiddwa zitendereza    ye- Mirza Ghulam.

 Ab'oluganda Abasiraamu, kati mubikkule ekitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa HAQEE QAT-UL WAHYI ku muzingo ogwa 22 ogw'ekkung’aaniro ly'ebitabo eliyitibwa Roohani Khazain,  bw'onobeera ng'otandikidde okusoma okuva ku lupapula olwe 77 okutuuka ku olupapula olwe 111, ojja ku kizuula nti Mirza Ghulam yawandiikamu ezimu ku ayats ye z'agamba mbu zamwolesebwa era mbu  nga nozo ziri mu lulimu luwarabu. Omuntu yenna amanyidde okusoma Qur'aan kyangu okukizuula amangu nti ebigambo eby’awandiikibwa mu kitabo kino ekya Mirza Ghulam by'akoppwa bukoppwa okuva mu Qur'aan bulambalamba. Yagendanga awaganyikamu ayats ezo ezigulumiza n'okusuuta Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) era n'ezimu ku ezo ayats ezakozesebwanga Hazrat Ibrahim (A.S.)

Kakati ka tubaweeyo eby’okulabirako ebitonotono ku zimu ezo ayats  Mirza Ghulam ze yabba  era n'azepaatiikako mbu zassibwa ku ye.

Tukimanyi bulingi nti Allah awaana Nnabbi Muhammad ( S.A.A.W) ne ba Swahaababe era n'abagulumiza  mu Qur'aan nga  bwe tunalaba mu ayats zino wamanga:

 Ø      Mu  surat-ul Fatha 48:29

"Muhammadur Rassuulullah wal-ladhiina ma'ahuu, ashidda'u 'alal kuffaar ruhamaa'u bainahum" Amakulu:

okumalira ddala ebyaasa kumi na bina, Abasiraamu babimazeeko nga tebafunangayo makulu malala gonna nga gavvunula aya eyo emanyiddwa obulungi. Naye obubaka (WAHYI) OBWASSIBWA KU MIRZA BW'AMUGAMBA MBU  BWEEBUTI:

"Muhammadur Rasuulullah wal- ladhiina ma'ahuu, ashiddaa'u 'alal kuffaar ruhamaa'u bainahum…' ‘mu bubaka buno Katonda yantuuma MUHAMMAD era mungeri y'emu yantuuma OMUBAKA’.

(Bino Bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain, omuzingo18 olupapula 207)

 Mu ngeri y'emu Ka twongere okubawa ayats endala nga nazo Ssinga omuntu azisoma akiraba mangu nnyo nti nazo z'ali nga zisuuta n'okugulumiza Sydna Muhammad (S. A. W). Naye kyewunyisa ate mbu ayats zino  mbu nazo ZASSIBWA KU MIRZA MBU NGA NAYE ERA ZIMUSUUTA N'OKUMUGULUMIZA. Mirza atugamba bw'ati:

Mu  surat At-tauba 9:33

Ø      ‘Huwa  lladhii   arsala    rasuulahuu   bil-huda...’

Ø      Amakulu:

Yye ye yye eyatuma omubakawe n'obulung'amu

Mu  surat banni Israaiila 17:1

 Ø      "Subhaana lladhi asraa bi 'abdihii…"

Amakulu:

Atukuzibwe oyo eyatwala omudduwe…

Mu surat Al-'Imraan 3:31

Ø      Qul in Kuntum tuhibbuna llaha fattabi- unii…"

Amakulu:

Gamba nti bwe mubeera nga mwagala Allah mungobelere

Mu surat Al-Fath 48: 1-2

Ø      "Inna fatahnaa laka fat- ham- mubiinaa

Amakulu:

Ddala ffe twakugulirawo oluggulawo olweyolefu ….

Mu surat Yaasiin 36:1-3

Ø      Yaa siin wal Qur'aanil Hakiim. Innaka laminal mur saliin ….."

Amakulu:

Yaaa siin ne Qur'aan ejjjudde amagezi. Ddala gwe oli wa mu babaka …..

Mu surat Al kausar 108:1

Ø      Innaaa a'atwainaakal kawsar…"

Amakulu:

Ddala ffe tw'akuwa ebingi …..

Mu surat Al-Ambiga 21:107

Ø      " wamaa arsalnaaka illa rahmata llil 'aalamiina"

Amakulu

Tetukutumanga wabula ng'oli kya kusasiza eri ebibuumbe

Mirza teyakoma ku kya kwepaatiikako mirimu gya nnabbi (S. A. W) wabula yatandika okweepaatikako n'ebitiibwa  bye ebilara nga bino wamanga:-

1.      Abantu b'enyumba ya mirza b'atandika okuyitibwa AHLI BAIT

2.      Mikwano gya Mirza b'afuuka ba SWAHABA

3.      Mukyala wa Mirza yafuuka UMM-UL M'OMINIIN

4.      N'omuzikiti ogw'azimbibwa kitaawe gw'atandika okuyitibwa MASJID AQSWA ogwe KADIYANI

Mirza agambaaa nti okumala emyaaka 1400, Abasiraamu baali b'awubwa ebanga lye b'amala  nga balowooza nti ekibuga yerusalemu kibuga kitukuvu. Era okusinziira ku Mirza Ghulam ye agamba nti omuzikiti ogwe AQSA omutuufu Nnabbi (S. A. W) gwe yagendamu bwe yalinya mu Ggulu mu kiro ekyo, amazima mbu go gali nti gwe ggwo oguli ku kyaalo kye Kadiyani.

Mirza ky'ava annyonnyola bw'ati:

Ø      Aya mu Qua'aani eri mu surat Banii Isaaiila 17:1 egamba nti: " Subhaana lladhii asraa bi'abdihii lailam min-al Masjid-il Haram ilal Masjid Aqsa …

Amakulu:

Atukuzibwe oyo eyatwala omudduwe mukiro okuva mu muzikiti ogw’emizizo okugenda ku muzikitiogw'ewala.

 Mirza Ghulam agamba nti ebigambo ebyo waggulu, amakulu g'abyo n'enkozesa y'abyo ebituufu bili nti: omuzikiti ogw'azimbibwa Taata wa Mirza era ogw'ayongerwako Mirza Kenyini gwe ggwo omutuufu ogw'ogerwaako.

(Bino Bikopeddwa okuva mu biwandiiko eby'aba kadiyani ebitibwa: Advertisment for collection of donation for Minarat-ul Maseeh. Collection of Advertisemnt vol. 3 page 286)

5.&n

الصفحات [1] [ 2] [ 3]
اضيف بواسطة :   admin       رتبته (   الادارة )
التقييم: 0 /5 ( 0 صوت )

تاريخ الاضافة: 26-11-2009

الزوار: 5162


المقالات المتشابهة
المقال السابقة
Qadiani Conspiracy Exposed
المقالات المتشابهة
المقال التالية
Mubahila 2000
جديد قسم مـقـالات الموقـــع
القائمة الرئيسية
البحث
البحث في
القائمة البريدية

اشتراك

الغاء الاشتراك