عرض المقال :OMUTANDISI W'EKIBIINA EKY'ABA
  الصفحة الرئيسية » مـقـالات الموقـــع » كشف البلية بفضح الأحمدية » Non - Arabic Articles » Luganda

اسم المقال : OMUTANDISI W'EKIBIINA EKY'ABA
كاتب المقال: webmaster
bsp;           Ekifo ekye KADIYAN ky'afuuka ekifo eky'emizizo nga kati kiyitibwa ARDHI –E- HARAAM era oyo yenna alamaga mu kifo kino abeera akoze HIJJA   ENTONO:

Ø      "Kati ekifo ekye kadiyyani kya kitiibwa. Enkuyanja y'abantu abalamagayo ekifudde eky'omuzizo"

(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo ky'ebitontome  eky'awandiikibwa Mirza ekiyitibwa: Mirza Ghulam's poetry dur-e-sameen p.56).

Ø      "Abantu bagenda okulamaga mu Hijja ne Umura. Naye okulamaga mu kifo kino (Jalsa Salana mu kadiyani) ofuna empeera empitirivu obungi okusinga n’oyo akoze Umura era oyo yenna alagajjalira ekikolwa kino abeera wa kabenje era ow'obulabe, olwensonga nti lino ekkubo (elyaba Ahmadiyya) kkubo ly'ava wa Katonda era kiragiro kye".

(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa Alna-e Kamalat-e Islam. Roohani Khazani  vol.5p.352)

Ø      "Olw'ensonga nti abo bokka abalina obusobozi, be balamaga mu Hijja, nga ne wankubadde obubaka bw'asooka kusaasaanyizibwa mu baavu; abaavu bo b'asonyiyibwa obutakola Hijja. Ekyaava mu kino Katonda  kyeyava atekawo ZUL-HAJJ endala kino kisobozese abantu abo Katonda ye b'ayagala okukwaasa omulimu gw'okusitula obusiraamu era n'abo abasiraamu abaavu ab'omu Buyindi kibasobozese okujetabamu.

(Bino bikopeddwa okuva mu lupapula lw'amawulire olw'aba Kadiyani oluyitibwa: Alfazl Vol. 20 No. 66 olwafuluma nga 1st Decmeber, 1932 nga yali khutuba ya khalifa w'aba kadiyani  eyayitibwanga Mlan Mehmood Ahmad)

6.            N'ekisembayo, naye nga si kye ky'enkomelero, abasikira Mirza Ghulam Ahmed b'atandika okuyitibwa "KHULAFA-E-RASHIDIIN".

OBUBAKA (WAHYI) MBU OBWASSIBWA KU MIRZA GHULAM

Mu kiseera kino Mirza yakalambira era n'atandika n'okwogera nga tewali na kwemotyamotya n'alangilira nti atandise okussibwako obubaka okuva ewa Katonda. Bw’atyo kye yava ayogera kaati bw’ati:

"Omusingi kwe twesigamizza okw'ogera bino te gwesigamidde ku zi Hadiths, wabula twesigamidde ku Qur'aan.Wabula tuzikozesa ezo zi Hadiths ezikwatagana ne Qur'aan era nga TEZIKONTANA N'OBUBAKA OBWASSIBWA KU NZE. Zo zi Hadiths ezisigadde NZIKASUKA ERI NG'EBISASSIRO"

(Bino bikopeddwa mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 19 page 140)

Ø      "Mu kitabo Braheen-e-Ahmadiyya, Katonda y'ampita ng'akozesa elinya erya Ibrahim".

(Bino  bikopeddwa mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Arba'een No. 3 Roohani Khazain, vol. 17 page 420).

Ø      "Ensomesa yange erimu amateeka, ebiziyizo n'okuzza obupya amateeka amakulu mu shari'at. N'olwensonga eno, Katonda ensomesa yange n'obubaka byonna ebikka gyendi, kyavudde abituuma "elyaato". Kyemuva mukilaba nti Katonda kyavudde alangilira obubaka bwange, ensomesa yange n'okuwela kwe mpera mu maaso  ge, n'abigerageranya n'elyaato elya Nuuwa ekyo kifuuke enunuzi oba eky'okununuzusa abantu bonna. Abalina  amaaso basobola okukilaba n'abalina amatu basobola okuwulira".

(Bino pikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa Arba'een, vol. 4 foot note of page 6 ne Roohani Khazain vol. 1.p 435)

Ø      "Kino nkyogera era nga bwe ndayira n'erinya lya Katonda nti obubaka obwassibwa ku nze mbukkiririzamu ng’era bwe nzikkiririza mu obwo obuli mu Qur'aan n'ebitabo ebilala ebya Katonda. Era nga  bwe siwakanya nti Qur'aan kitabo kya Katonda, era bw'entyo bwe nzikkiriza nti obubaka obussibwa ku nze bigambo bya Katonda ddala".

(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo ky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa Haqeeqatul wahi Roohani Khazain vol. 22. p. 220).

Ø      "Obukkiriza bwe nina ku bubaka obussibwa ku nze bwenkanira ddla n'obwo bwenina ku Qur'aan ne Tawleti".

(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa Arba'een No. 4 ne Roohani Khazain vol. 17 p. 454).

Ø      "Era ekigambo kya Katonda kyassibwa ku nze mu bungi era ssinga kikunng’anyizibwa tekisobola ku beera wansi wa bitundu amakumi abiri (20 parts).

(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa Haqeeqatul Wahi, Roohani Khazaini vol. 22 p. 407).

MIRZA AGAMBA NTI Y'ASINGA NNABBI MUHAMMAD S.A.A.W (ma'az Allah):

Wabula mirza Ghulam Ahmad yali tannamatira. Bw’atyo  yeeyongera  okuwankirawankira okwongerako. Buli muntu yenna asobola okukiteeba: Kino kwali kweyongerako mu by’okulyoowa kw'emyoyo oba bwali butabufu bwa bwongo? Ekyaddilira kwe kutandika okwelangilira nga bw'asiinga Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) ekitiibwa n'okubeera owa wagulu. Kyeyava agamba bwati:

"Go amazima gasigala gakyali nti eby'emyooyo ebya Nnabbi S.A.A.W (nga bino tubilabira Mirza Ghulam ) mu kino ekiseera ekifundikira ekyaasa eky'omukaaga, bisingira ddala wala nnyo mu maanyi era n'okubeera ebituufu ssinga obigelagalanya wamu n'egyo emyaka egy'asooka, binanafa n'omwezi ogw’eggabogabo"

(Bino bikopeddwa kuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa khutba –e-   iihamiah, Roohani khazain vol. 16 P. 271)

Ø      "Nabbi waffe yatandika okufuna obubaka mu mwaka gw'enkumi ttano (5) (bwe yazalibwa e Makka) nga bwonna bujjuvu naye ekyo ekiseera tekyaali  kutuuka ku ntikko y'okweyongera mu by'okukka kw'obubaka.Wabula,kyaali ntandikwa y’okujjuza obubaka. Oluvanyuma okweyongera kw'okussibwa kw'obubaka kw’ayolesebwa mu bujjuvu mu mwaaka ogw'akakaaga (guno gwe mwaaka gwe yaddamu  okuzaalibwa mu kadiyani) nga kino kye kiseera kya kakano".

 (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa Mirza in Khutba-ilhamiya,Roohani Khazain,vol.16.p. 66). 

Ø      Mirza oluvannyuma yagamba  abagoberezibe nti yye yaweebwa obubonero 300,000 wamu n'ebyamagero sso ng'ate yye Nnabbi (S.A.A.W) yaweebwa 3,000 bwokka. Ng'eno bwe yewaanawana, yawandiika mu kitontomekye bw’ati "Katonda yawa Nnabbi (S.A.A.W) eky'amagero kimu kyokka kye ky'okusiikirizibwa kw'omweezi, naye ate nze naweebwa byombi- eky'okusiikirizibwa kw'enjuba n'eky'omweezi. Kale munzikirize.

                  ( Bino    bikopeddwa okuva        mu                                   

                  kitabo eky’aba kadiyan iekiyitibwa:

                  Aijaz-e-Ahmadi,Roohani Khazain Vol

                 19p183)

Ø      Mirza yeewaana nti, waliwo ebyaama ebikusike n'amakulu ga Qur'aan amakusike nga byo tebyayolesebwa eri Nnabbi Muhammad (S.A.A.W), naye ate nga Mirza by'amubulirwa. Ne kibeera nga bwe kiri bwe kityo nti Nnabbi (S.A.A.W) teyategeera makulu ga bigambo nga Ibne Maryam, Dajjal, endogoyi

 (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa Izala-e-Auham, Roohani Khazain vol. P. 473).

Ø      Era Mirza yagamba nti "Obusiraamu (obwa Nnabbi (S.A.A.W) bw'atandika nga bw'olaba omweezi ogw'embonekelera era ne buteekebwa teekebwa okufuuka obujjuvu nga bw'olaba omweezi ogw’eggaboggabo. (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa Roohani Khazain vol. 16. p. 184).

Ø      Kino kyeraga kyokka nti Fath-e-Mubeen (obuwanguzi obw'olwatu) bw'atukibwaako mu kiseera ekya Nnabbi waffe (S.A.A.W)  wabula, obuwanguzi obulala tebwaatukibwaako, ate nga  bbwo bwe businga okubeera obweyolefu  n'obukulu era bw'ateekebwa teekebwa butuukibweeko mu kiseera ekya Masiih eyalaganyisibwa".

 (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa Roohani Khazain vol. 16 p. 288).

Ø      Omu ku bagoberezi ba Mirza yatontoma ekitontome ng’ali mu maaso ga Mirza Ghulam bwati:

"Ono gwe tulaba kati ye Muhammad akomyewo nate muffe era ekitiibwa kye kati kiyitirivu okusinga bwe kyaai oluberyeberye. Oyo yenna eyandyagadde okutunulira ku Muhammad ng’ali mu mbeeraaye ey'obwenkamu nkamu asaanidde amaaso ge agolokeze Ghulam Ahmad wano we tuli mu kadiyani".

Kigambibwa nti Mirza bw'amala okuwulira ebigambo ebyo, yaddamu bw’ati nti Jazakallah era oluvannyuma ekitontome ekyo ky'awandiikibwa mu nnukukuta ezaawundibwa obulungi ennyo, ne kiwanikibwa mu nnyumbaye.

(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky’aba Ahmadiyya ekiyitibwa Qazi Zahoor Ahmad akmal Qadiani,ekyakubibwa ne mu lupapula lw’amawulire oluyitibwa paigham-us sulh nga 14th March,1916 mu kyaalo kye kadiyani)

Ø       Okukula kw'obwongo n'amagezi ebya Masiih eyalaganyisibwa (Mirza owe Kadiyani) byaali bya waggulu nnyo ekisukkiridde okusiinga ku ebyo ebya Nnabbi (S.A.A.W) era bino  bye bintu byokka ebya ssukkulumya Masiih eyalaganyisibwa ku Nnabbi (S.A.A.W)  ku lw’ensonga nti obwongo bwa Nnabbi (S.A.A.W ) bwaali tebusobola kukkako bubaka mu bujjuvu, olw'obukendeevu n'okubeera emabega mu bye’nkulakulana yadde ng'obusobozi bbwo bwaliwo. Wabula, mu nsangi zino,Obujjuvu bw'obubaka bweyolekedde mu Masiih eyalagayisibwa olw'ensonga nti waliwo okugenda mu maaso mu by'enkulakulana

 (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Review of Religions, ekyafufuma nga May 1929, wansi w'omutwe :Qadian Mazhab p. 266. 9th Ed. Lahore.)

MIRZA  YAGENDA   WALA      MU KUKAKKANYA WAMU   N’OKUTYOOBOOLA   NNABBI   MUHAMMAD ( S.A.A.W)

 

q       Nnabbi Muhammad S.A.A.W teyategeera makulu agaali mu suula eyitibwa AL-ZILZALAH

(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 3 p. 166-167).

 

q       Obubaka bwa Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) nabwo oluvannyuma bw'afuuka   obw'obulimba

(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Ahamadiyya  ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 3p. 474)

q       Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) naye yakolanga ensobi bw'atategeeranga bubaka   obwaabanga   bumusseeko.

(bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 2 p. 224).

q       Ekifo aw’aziikibwa Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) obusiraamu bukimanyi nti kifo kya kitiibwa nnyo. Naye Mirza yakikakkanya olukakkanya! (Nsaba Allah n'omubakawe b'ansonyiwe okuwandiika ebigambo bya Mirza ebitayisika mu kamwa) yagamba bwati: "Era Katonda naye yagenda okulaba ng'ekifo EKINYOOMOOFU BWE KITYO, EKIWUNYA BWE CHUCHUCHU, EKIFUNDA BWE FUNDAFUNDA ate nga KYA  NZIKIZA BWE ZIBIZIBI. EKIJUDDE EMPITAMBI Y'EBIWUKA.  Nga kyekisaanidde okuziikibwamu Nnabbi (S.A.A.W)

 (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Roohani Khazain vol. 17p. 205).

MIRZA YEYITA NNABBI OW'ENKOMELERO

Mirza bwe yatuuka ku ddaala ely'okweyita NNABBI OW'ENKOMELERO, kino kyaali tekyewuunyisa muntu yenna. Era yatandika okugamba   bwati:

Nkiding’anye emirundi mingi nti okusiinziira

ku ayat eri mu Surat-Al-Jumu'a 62:3 egamba nti, "wa aakhareena minhum lamma yalhaqoo behim…. Amakulu: Era (alituma n'eri) abalala mu bo abatannabegattako … mu ngeri eya BUROOZI (ekigambo kino kyavvunulwa aba kadiyani nga kitegeeza ekifananyi  oba okubbula) Ye nze oyo Nnabbi KHATUM-UL-ANBIYA (Nnabbi ow'enkomelero) Era emyaaka abiri egyayita Katonda y'antuuma MUHAMMAD era AHMAD mu kitabo Braheen-e-Ahmadiyya era bw’atyo n'alangilira nti nze kifananyi ekya Nnamaddala ekya Muhammad (S.A.A.W). Era bwe kityo ne kiba nti obwa Nnabbi bwange tewali we bwawukanira mu kitiibwa olwensonga nti (Mirza Ghulam) nze Nnabbi ow'enkomelero; kubanga silabawo njawulo wakati w'ekisikirize n'ekyo mwekivudde anti nze kisikirize kya Muhammad era nze kifananyikye.

Era bwe kityo bwe kiri nti okufundikirwa kw'obwa Nnabbi ow'enkomelero kubeera tekutuseewo- kubanga obwa Nnabbi obwa Muhammad   bwasigazibwa   Muhammad."

Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Mirza Ghulam in Ek Ghalti Ka Izaala, Roohani Khazain vol. 8 p. 212.

q       "Alina omukisa gwa njawulo oyo antegedde. Mu makkubo gonna agakutuusa ewa Katonda, nze kkubo elisembyeeyo. Era mu bitangaala byonna, nze kitangaala ekisembyeeyo. Oyo yenna anjabulira wa mukisa mubi nnyo kubanga nze wessili ate wadawo kizikiza."

(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa Kashti-e-Nooh, Roohani Khazain, vol. 19 p. 61). 

q       "Obwa Nnabbi bw'akoma ku Nnabbi waffe (S.A.A.W) n'olwekyo oluvannyumalwe teri Nnabbi mulala okujjako oyo yekka eyakilwaako ekitangaalakye era Katonda gwe yafuula nga yye gwe mwooyo gwa Nnabbi. Mukitegeere nti obw'enkomelero bw'obu Nnabbi bw'aweebwa  Muhammad (S.A.A.W) okuviira ddala eyo ku ntandikwa; ate era ne buweebwa n'oyo (Mirza Ghulam) eyasomesebwa mwooyo wa Katonda era eyafuusibwa ekisiikirizekye. Bw’atyo alina omukisa oyo eyasomesebwa (nga ye Mirza). Bwe kityo ne kiba nti OBW'ENKOMELERO BW'OBU NNABBI  bw’ateekebwateekebwa  nga bwa kubelawo mu KYAASA EKY'OMUKAAGA, nga lwe lunaku olw'omukaaga mu nnaku eza Katonda…. Kale bwe kityo bwe kyaali nti: Masiih eyalaganyisibwa yazalibwa mu KYAASA EKY'OMUKAAGA."

(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo ekyaba kadiyani ekiyitibwa: Zamina Khutba Khamiah, Roohani Khazain vol. 16p. 310).

Ate ye mirza Basheer Ahmad ng'ono ye mutabani wa Mirza Ghulam yawandiika bwati:

"Eliyo omuntu omu yekka eyafuna eddaala ly'obwa Nnabbi mu kibiina (Ummah) ekya Nnabbi Muhammad… ng'ojjeeko ono Masiih eyalaganyisibwa (Mirza) tewaliyo mugoberezi wa Nnabbi Muhammad eyatuuka ku ddaala ely'okuyitibwa ekisikirize kya Nnabbi. N'olwekyo Masiih eyalaganyisibwa ye yekka eyalondebwa okuyitibwa Nnabbi".

(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Kalimat Al-Fasri, Review of Religious, Qadian p. 116, No. 3 vol. 14).

Ate ko akatabo  akamawulire akatongole nga ke kogelera ekibiina eky'aba kadiyani k’awandiika bwe kati:

"Ebyawandiikibwa bino bikakasa bukakasa nti ng'ojjeeko Masiih eyalaganyisibwa, tewaliyo mulala ayinza kubeera Nnabbi….oluvannyuma lwa Nnabbi (S.A.A.W).Wabula  ate, kyali kyetagisa okutumayo Nnabbi omu yekka, kubanga okujja okw’aba Nnabbi abangi ekyo ate kyali kijja kutataaganya amagezi n'enteekateeka ya Katonda.

(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Tasheed-ul-azhan, Qadiani, No. 8, vol. 12, p. 11 dated August 1917).

MIRZA AGAJAMBURA OBUSIRAAMU

Mirza agamba:

OBUSIRAAMU OBWALIWO NGA MIRZA TANNAJJA EYO DIINI NFU.

·        "Eyo mu mwaaka gwa 1906 Khwaja Kamaluddin yaleeta ekirowoozo n'agamba Moulvi Muhammad Ali akole endagaano n'omukung'aanya w'olupapula oluyitibwa Akhbar-e-watan obutabaako kye bawandiika   nga kyogera akantu konna ku kabondo k’aba kadiyani, ku muko ogw'olupapula olwo ogukwaata ku kutunulira amaddiini,  wabula, bawandiike era basasaanye ebintu ebya bulijjo ebikwata ku busiraamu era nti omukung'aanya w'olupapula watan ayongere okubunyisa mu lupapula luno obusiraamu nga kino kya kuyamba ku lupapula luno okwekkebejja ebikwata ku maddiini.

Masiih eyalaganyisibwa kino yakigaana era ne kiwakanyizibwa nnyo ekibiina kino (eky'aba kadiyani) Hazrat sahib yagamba:

"Mwaagala okusomesa obusraamu obufu eri ensi nga  mujjeemu nze(Mirza)?

. (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Zikr-e-Habib ekyawandiikibwa Mufti Muhammad Sadiq Qadian ku  page 146, first edition).

·        ‘Ffe tukkiriza nti eddiini etelina kweyongera kwa kujja kwa bubaka (nga bwe kiri mu busiraamu) ebeera Ddiini nfu. Amaddiini: ng'eyaba yudaya, ey'aba kuristayo n'eyaba Hindu ffe tugayita maddiini mafu: olw'ensonga nti tegakyalina ba Nnabbi mu go. Ssinga kino bwe kyaali ne mu busiraamu, twandibadde tusigalidde kunyumya bunyumya mboozi buboozi. Lwaki eddiini y'obasiraamu tugitwaala okubeera nti y’esinga amadiini amalala? Eteekwa  kubeera  nga    yanjawulo.’

(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Malfoozat-e-Mirza, vol. 10. page 127

MIRZA ALANGILIRA NTI EDDIINI Y'OBUSIRAAMU DDIINI NKOLIMIRE, YA SITAANI ERA ENNYOOMOOFU .

yagamba bw’ati:

"Eyo  tebeera ddiini  era oyo ssi Nnabbi asaanidde okugobelerwa ssinga omuntu tafuna kitiibwa kimusembeza ewa Katonda okunyumyaamu naye. Eddiini  eyo ebeera NKOLIMIRE era ENNYOOMOOFU esomesa nti okukulakulana kw'omuntu kusinziira ku byafayo n'enfumo ebitonotono [ng'ebyo ebili mu Qur'aan ne           shari’at-e Muhammadiyya nga byaatunyumizibwa  Nnabbi (S.A.A.W)-  bya muwandiisi] era ne WAHYI  (obubaka)  nabwo busigalidde mabega mu kifo ky’okugenda mu maaso…N’olwekyo eddiini efanana bw’etyo esanidde eyitibwe ddiini  YA SITAANI  sso  ssi  kugiyita  ddiini eva ewa Katonda".

(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Zamina Braheen-e-Ahmadiyya , part V, Roohani Khazain, vol. 21 page 306)

.  Nga  kigambo  kya  nnaku  nnyo  era  ekikyaamu    okukkiriza  nti  oluvannyuma lwa nnabbi   ow’ekitiibwa(S.A.A.W)  omulyaango gw’obubaka  gwa galibwaawo  Ddala era  tewakyaali na  ssuubi nti guliggulibwaaawo nate   okutuusa ku lunaku  lw’enkomelero-Kale mmwe mugila mwesiinza enfumo.Dala kisoboka:  e Ddiini    etalina  mukululo  gwa Allah okuyitibwa e Ddiini?…Nze kale ng’amba,era  nday ira mu linnya   lya Allah, tewali mu myaaka gyaffe gino atamiddwa Ddiini  eyo   nga  nze.Eddiini eyo nze ngiyita Ddiini ya  sitaani  era  ssi kya  kusaasila (kya  katonda)  era  nzikkiriza  nti  eddiini  eyo  ebeera  eyolekeza  muntu   eri  muliro  era   eziba omuntu amaaso  mu bulamu  okutuusa lw’afa.

(bino  bikoppeddwa  okuva  mu  kitabo  aky’aba kadiyani  ekiyitibwa:zamina  braheen-e-ahmadiyya  part V)     

MIRZA BYE YAYOGERA KU QUR’AAN

Mirza agamba bw’ati:

"Qur'aan kitabo kya Allah era bigambo bya kamwa kange".

(bino bikopeddwa okuva mu birango eby'aba kadiyani ebyafulumira mu kitabo: Roohani Khazain vol. 22 p. 87 nga 15th March 1897).

Mirza bwe yasoomoozebwa nti ebiwandiikobye  birimu ebigambo ebivuma abo abamuwakanya, ye  yabaddamu n'agamba nti ne Qur'aan namwo mujjuddemu ebigambo ebitayisika mu kamwa era Mirza kwe kulondobayo ebigambo mu Qur'aan ye  bye yagamba nti okusinziira ku mulembe guno bigambo bikyaafu.

 (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 3 p. 115-117).

MIRZA AKYUUSAKYUUSA  MU QUR'AAN.

Abantu bakozeseza engeri nnyingi  okugikyuusakyuusa  ezimu  kuzo  ze  zino:

-         Okukyuusakyuusa mu mpandiika

-         Okukyuusakyuusa mu makulu n'ezivvunula

-         Okukyuusakyuusa mu ntaputa ne nkozesa   ya   ayats.

-         Okusazaamu wamu n'okujjamu amateeka agamu mu Qur'aan.

Mirza emisango egyo gyonna ena yagizza. We wawo teyakyuusakyuusa mu mpandiika ey'olulimi oluwarabu mu Qur'aan naye bw'abeera nga yeesembesa ayats ezimu mu Qur'aan nga bwe kirabika mu bitabobye ebimu,ayats ezo, YAZIKYUUSAKYUUSA NG’AKIKOLA MU BUGENDEREVU.

Enzivvunula n'amakulu ebikyaamu eby'ansinga okwatikilira ennyo mwe muli emu kuzo eya Surat-ul- Al-Ahzaab, ayat ey'ana (33:40) ng'ekwata ku KUFUNDIKIRA OKW'OBUBAKA BWONNA, Bukya kitangala kya Busiraamu kitandika kwaakayakana, Nnaddala okuviira  ddala eyo ku Nnabbi Muhammad S.A.A.W okutusiza ddala eno ku myaaka gwaffe guno gwe tulimu, abasiraamu bonna bazze bakimanyi era nga bakikakasa nti ayat eyo ekyasanguza, ekyoleka era n'ekilangilira bulungi awatali kwekkommooma nti okukka kw'obubaka kw'afundikwarwa ne Nnabbi Muhammad S.A.A.W. ekyo ne Mirza Ghulam ahmad, mu biseera by'emyakagye eby'asooka, kye yali akkilirizaamu. Wabula, oluvannyuma endowoozaye ku kino yakyuuka  n'atandika okuyiiyayo ennyinyonyola eyiye egamba nti Muhammad (S.A.A.W) SSI Y'ENVUMBO Y'OBU NNABBI wabula ako kaba  KABONERO AKAKAKASA okweyongera kw'okujja kwa ba Nnabbi abalala- Ng'alinga agamba nti ALLAH eyatuma ababaka 124,000 kati obwo obuvunanyizibwa abwegyeeko ate n'abukwasa Nnabbi muhammad( S.A.A.W.) Wabula ekisiinga okwewuunyisa:mukiseera  kye kimu ne yelangilira  nti YE YEKKA NNABBI ADIRIDDE muhammad (S.A.A.W.) Era yye ky’ekitaangaala ekisembyeeyo mu bitaangaala byonna ebya Allah. Mungeri endala, tuyinza okugamba nti ekyo kyelaga bwelazi nti ebyo byonna Mirza Ghulam bye yagezaako okukozesa byaali  bya kugalangatanya  bwongo bw’abantu nga bwe kilabikira mu nyinyonyolaze eziri mu bitabobye ng'obukodyobwe asobole okumatiza abagoberezi be nti naye yali Nnabbi. Bwe yamala okuggulawo omulyango gw’obwa Nnabbi ogwa KHATME NABUWWAT, n’aguyingira ate amangu ago n'aguggala. Kano ssikabonero ak’enkukunala ak'omubbi kasomolera?

Era mungeri y'emu abasomi baffe mukilabye nga Mirza bwe yakozesa ayats ezo ezisuutasuuta  n'okugulumiza Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) ate yye n'azikyuusa n'azepaatiikako  mbu zaali zisutasuuta n'okugulumiza yye  nga mirza.

         Ekikolwa  KY’OKUSAANYAAWO  ENJIGIRIZA  EYAGAZISA ABANTU JIHADI , Mirza Ghulam Ahmad                                                     kye yakola, kya kulabirako eky'eyolefu ekilaga nga bwe yatigiinya n'okuzanyira ku mateeka ga Qur'aan.  Ka mbaweeyo eky'okulabirako kimu kinatumala.

Yagamba bwati:

·        "Okutandika n'olwaleero NZIYIZZA omuntu yenna okukozesa ekitala ng'alwaana mu kkubo lya Allah nga kino ekilagiro kivudde wa ALLAH. Okuva n'olwaleero oyo yenna anaasitulanga  ekitala ng'akyolekeza omukafiri  yenna  era  nga yeyita Ghazi, oyo ajja kubeera ng'ajemedde oyo omubaka (S.A.A.W), eyatugamba ,kati emyaaka 1300 egiyise, nti oluvannyuma lw'okujja kwa Masiih eyalaganyisibwa  Jihadi zonna ez'ebitala zigenda kukoma. Kati oluvannyuma lw'okujja kwange (nze mirza)    TEWAKYALIWO  NTALO ZA BITALA. Eno ku ludda  olwaffe kati tuwanise bendera ya mirembe na mukwano".

(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: collection of advertisement p. 295, vol. 3)

·        "Okuviira ddala eyo mu buto bwange okutuusiza ddala eno kati nga mpeza emyaaka 65 egy'obukulu bwange,ekiseera kino, nkimaze nga nkozesa ekalamu n'olumili lwange okutuukiriza omulimu omukulu ennyo nga gwe  gw'okukyuusa emitima gy'abasiru (abasiraamu)".

(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Kitab-ul-Bariyya, Roohani Khazain vol. 13 p. 350)

·        "….ku lwa Gavumenti ya Bungereza, maze okukuba mu kyaapa era ne nsaasaanya obutabo 50,000 munda mu gwanga (Buyindi) wamu ne mu mawanga g'obusiraamu mangi (nga mpakanya Jihad)… ekivudde mu kino kwe kubeera nti enkumi n’enkumi z'abantu bamaze okulekayo endowooza zabwe envundu eza Jihad"

·         (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain 15 p. 114)

MIRZA N'ABASIRAAMU

Mirza yabuuzibwa ekibuuzo nga kikwata ku Busiraamu era naye naddamu ebigambo ebitasanidde muntu yenna kubisubwa kubisomako. Ebigambo bino bisangibwa mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa Haqiifat-ul wahyi.

·        EKIBUUZO: "Huzoor-e-aali agenda ayogera mu bifo bingi nti si kirungi okuyita omu KAFIRI nti Kalima-go (kitegeeza oyo ayogera Kalima) era okumuyita Ahli-qibla, kibo kiba kyelaga bwelazi nti  ng'ogyeeko abo abakkiriza oluvannyuma abakafuwala olw'obutakukkiriza, nga bakuwakanya buwakanya, tewali afuuka mukafiri. Wabula ate ggwe wawandiikira Abdul Hakiim Khan nti omuntu yenna atusiddwako obubakabwo naye n'atakukkiriza, oyo ssi musiraamu. Tufuna okukontana mu bigambobyo bino n'ebyo bye tusanga mu bitabobyo eby'asooka. Emabegako, wawandiika mu kitabokyo ekiyitibwa Tiryaqul-Quloob n'ebilala ng'ogamba nti tewali ayinza kukafuwala olw'okkuwakanya ate kati wekyuusizza era owandiika nti oyo yenna akuwakanya abeera akafuwadde!".

·        OKUDIBWAMU: "Kino kyewunyisa okubeera nti omuntu atakkiliriza  mu nze n'oyo ampita omukafiri, ggwe bombi obatwala nti ba njawulo. So ng'ate mu maaso ga Katonda bombi babeera kye kimu; olw'ensonga nti oyo yenna ampakanya olw'okubeera nti antwala okuba omuzuuzi….ate ssi ekyo kyokka, n'oyo atakkiriza nze, abeera takkiriza Katonda n'omubakawe kubanga ebigambo bya Katonda n'omubakawe byonna binjogerako".

 (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Haqeeqat-ul Wahyi, Roohani Khazain vol. 22 p. 167).

·        Singa  ogyako ABAANA BA BAMALAYA, bo  abo emitima gyaabwe Katonda yagitekako envuumbo, naye abasigadde bonna bankakasa era ne banzikkilirizaamu".

(Bino bikopeddwa okuva mukitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Aina-e-Kamalat-e-Islam, Roohani Khazin vol. 5 p. 547).

·        "Katonda asizza obubaka gyendi nga ang’amba nti oyo yenna maze okutuusibwaako obubaka bwe nzize nabwo oluvannyuma natanzikkiriza, oyo tabeera musiraamu

 (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Letter to Mirza to Dr. Abdul Hakeem Khan Patialvi)

·        Nfunye obubaka okuva ewa Katonda nga bung’amba nti: Oyo yenna atakugoberlera era natayingira  mu Baith yo era nasigala ng'akulwanyisa, abeera ajeemedde Katonda n'omubakabawe. Ng'anabeera alabye".

 (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Adverstisement in M'ayaar-ul-Akhyar of Mirza Ghulam p. 8).

·        "Musanidde mujjukire Katonda bwe yang'amba nti kigamiddwa era kiziyiriziddwa ddala eri omuntu yenna okusaalira esswalah ye emabega w'oyo atali mukkiriza wamu n'oyo eya kyuukira ku bisinziro bye (n'atangobelera) wabula musanidde okubeera nga mufanana mu bukkiriza (iman)

·         (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Arbaeen No. 3 Roohani Khazain vol. 17 p. 417).

OKUWUUMBAWUUMBA

Abagalwa abasomi baffe!

Nina esuubi nti wano wetutuuse mumaze okufuna ekifananyi ekyeyolefu ekitalimu kubuusabuusa kwonna ekitulaze wa omusajja ono w'ayimiridde ku Busiraamu era na kiki Mirza kyaali. Ebyo byonna bye yelerejja nabyo mbu yali omuntu eyali atamiziddwa n'omukwano gwe  yalina eri Nnabbi w'obusiraamu, kaali kakodyo ka kusendasenda basiraamu bambi abaali abatalina kye bamanyi kinene kyannyo ku Ddiini yaabwe basobole okuyingira mu nzikkiriza y'ekibiina eky'aba  Kadiyani oba kiyite eky'aba Ahmadiyya.

Ebibuuzo bino wamanga buli musomi asanidde abyebiize.

·        Ddala ebigambo ebyo waggulu ebyogeddwa bituufu oba nedda?

·        Bwe bibeera nga bituufu, kisoboka okugamba nti Mirza Ghulam Ahmad, omutandisi w'ekibiina ky'aba Ahmadiyya, yasuutasuuta nnyo wamu n'okutendereza Saidina Muhammad (S.A.A.W) oba yatyooboola mutyooboole na kumuvuma?

·        Omuntu ng'oyo kiyinzika omutwegwe okubeera nga mulamu?

·        Ddala omuntu  oyo asanidde okuyitibwa omusiraamu?

·        Lwaki ekibiina ky'aba Ahmadiyya Movement kikweeeka ebigambo n'ebikolwa by'omutandisi w'ekibiina kyaabwe?

·        Lwaki ekibiina ky'aba Ahmadiyya Movement kifaayo nnyo era ne kiwankira wankira nnyo okuwa ekifananyi eky'oludda olumu olwokka ekilaga nga Mirza Ghula Ahmad bwe yali omugoberezi era omwagazi owa Nnamaddala owa Nnabbi ( S.A.A.W)?

Eyo yonna ensalawo gy'onooba ofunye ku ye, gigerageranye neyo Mirza ghulam ahmad yennyini gye yelonderawo ku ki kyaali bwe yatontoma ekitontome kino wamanga:

"Ow'omukwano, nze nsiringanyi! Sili muntu

nze kitundu ekikozesebwa mu  by'obugwenyufu ku basajja era ekifo eky'ensonyi ku Bantu

KANO KETEGEREZE: Amakulu g'ebigambo ebyakozesebwa mu lurimi  olu Urdu bitegeeza ebyo ebitundu eby'ekyaama eby'abantu – (Binyonyoddwa    omuwandiisi)

(Kino ekitontome kikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa: Braheen-e-Ahmadiyya-V. Roohani Khazain vol. 21 p. 127).

Nga mmaliriza nsaba Allah alage era ayakayakanye ekitangala ky'obusiraamu eri abo ab'awubisibwa wamu n'okubuzibwabuzibwa olwa ppokoppoko w'obulimba eyabakolwaako abo abekweeka mu linnya ly'obusiraamu  sso ng’ate tebabuli. Nsaba Allah ataase enzikkiriza y'obusiraamu eri obulimba ng'obwo. Amiin.

Assalaamu Alaikum eri abo bonna abagobelera ekkubo eggolokofu.

ANTI AHMADIYYA MOVEMENRT IN ISLAM SYED ABDUL HAFEEZ SHAH

DR SYED RASHID ALI

P.O.BOX 11560

Dibba Al Fujairah

United Arab Emirates

Fax (971 9) 442846

http://alhafeez.org/rashid/

 

 

الصفحات[ 1] [2] [ 3]
اضيف بواسطة :   admin       رتبته (   الادارة )
التقييم: 0 /5 ( 0 صوت )

تاريخ الاضافة: 26-11-2009

الزوار: 4887


المقالات المتشابهة
المقال السابقة
Qadiani Conspiracy Exposed
المقالات المتشابهة
المقال التالية
Mubahila 2000
جديد قسم مـقـالات الموقـــع
القائمة الرئيسية
البحث
البحث في
القائمة البريدية

اشتراك

الغاء الاشتراك